Amawulire

Abasuubuzi batutte mu kkooti gwe balumiriza okubanyaga obukadde 800

OMUSAJJA Samuel Omazare nnannyini kitongole ky’obwegassi ekimanyiddwa nga Mukono UPENDO Market Vendors Multipurpose Co-operative Society Limitedaleeteddwa mu kkooti n’asomerwa omusango gw’obubbi.

Omazare
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSAJJA Samuel Omazare nnannyini kitongole ky’obwegassi ekimanyiddwa nga Mukono UPENDO Market Vendors Multipurpose Co-operative Society Limited
aleeteddwa mu kkooti n’asomerwa omusango gw’obubbi.

Asabye kkooti okweyimirirwa, abasuubuzi ne bakiwakanya. Abasuubuzi abasoba mu 100 bajjudde kkooti era olusomye omusango guno, omuwaabi wa gavumenti Kennedy Kubokwa n’ategeeza ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso ng’akyetaaga akadde, ekiwadde omukisa looya wa Omazare Albert Omwoli okusaba kkooti omuntu we yeeyimirirwe.
Omwoli aleese abantu bana okuli akola ng’akulira ekitongole kikola ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga, Daniel Richard Makayi Nangalama ng’ono muganda wa
musibe, Chris Matembu Wataka ng’ono mubazi wa bitabo omukulu okuva mu MTC Associates, Isaac Mulyanima ng’ono wa byamasannyalaze ssaako Sarah Bulondera omusomesa ku ttendekero lya gavumenti erya Kabulasoke PTC mu disitulikiti y’e
Gomba. Wabula omuwaabi wa gavumentiasabye kkooti emuweemu obudde asobole okwetegereza ebiwandiiko era wano omulamuzi omusango n’agwogezaayo okutuusa
nga 10 omwezi guno. Kino kitabudde abasuubuzi nga bagamba nti tebayambiddwa nti
singa ono afuluma tagenda kuddamu kulabikako, nga kye beetaaga ze ssente zaabwe. Bano bakukkulumidde kkooti olw’okugaana okubavvuunulira ebibadde bigenda mu maaso nga bagamba nti bo abamu tebamanyi Lungereza lubadde lukozesebwa mu kkooti.
Abasuubuzi ababadde abakaawu balaajanidde gavumenti n’abakulembeze okuvaayo babataase, kuba ensimbi zino zaali zakubayambako kuzzaayo baana ku masomero nga mu kiseera kino tebamanyi we bagenda kutandikira. Peter Kayongo ng’ono y’akiikirira abasuubuzi ku lukiiko olukulaakulanya ekibuga Mukono alaze obwennyamivu olw’abakulembeze ku mitendera egyenjawulo bonna okufuuka kyesirikidde, nga n’ekisinga okwewuunyisa n’abakulembeze b’akatale tebavuddeyo kuyamba ku
basuubuzi.
Wabula omulamuzi Otim ategeezezza nga kkooti eno bw’ekozesa Olungereza lwokka nga bwe wabaawo alina ky’atategedde agende ew’omuwaabi wa Gavumenti amunnyonnyole. Asabye abasuubuzi bano beerondemu abantu abatonotono babakiikirire, kye bawakanyizza. Omusango guddamu leero