BAKOMANDO ba America ab’ekibinja ekisinga obutendeke n’okwesigibwa era abatta Osama Bin Laden abaabasindiddwa ku misoni ku Iran babuze ekireese akasattiro.
Bano be b’ekibinja kya Navy SEALS ekyatta nalukalala Bin Laden eyakaabya Amerika bwe yagikuba n’atta abantu abasoba mu 3000 mu September 2001. Yattibwa ekibinja ekyo mu 2011 bwe baamugwako e Pakisitan mu makage ne bagesogga nga tategedde nga n’eggwanga eryo teribakkirizzaayo.
Bamuntunsolo bano abasinga obukugu babiri, amawulire ga Washington Post gagamba nti baasindikiddwa ku misoni ya kuketta mmeeri ya Yemen mu liyanja lya Red Sea ku mwalo gwa Gulf of Aden mu Yemen gye baabadde basuubira nti ekukusa byakulwanyisa Iran by’ewa eggwanga eryo okuwamba emmeeri z’amawanga ga Bulaaya ne Amerika nga bw’ezze ekola.
Yemen ne Iran zombi zirina natti ku kuweesa, okugula n’okutunda ebyokulwanyisa.
Amawulire ga Washington Post aga Amerika gagamba nti, abajaasi ba Navy SEALs baavudde Somalia ne bagenda ku misoni eyo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ekiro.
Akatabo k’amawulire ga Forbes kagattako ebyayogeddwa ekitebe ky’eggye lya America ekiri mu kyondo kya Buwarabu ekya U.S. Central Command ku Lwokutaano nti, abajaasi abo baabulidde ku liyanja eryo wakati wa Somalia ne Yemen bwe baabadde ku misoni kati bali mu kunoonyezebwa.
OBUGULUMBO BWA AMERICA NE IRAN BWONGEDDE OKUSAJJUKA
Embeera y’abajaasi abaabuze eyongedde okusajjula obunkenke obuli wakati wa Iran ne Amerika okuva Iran lwe yawambye emmeeri ya Amerika eyitibwa St. Nikolas ekyaviiriddeko Pulezidenti Joe Biden okuwandiikira Iran ng’agirabula okugibaddiza awatali kakwakkulizo n’okulekera awo okuwagira abayeekera ba Houthi.
Aba Houthi bamaze ebbanga ne Iran nga bewera okulemesa America obulamu ne Yisirayiri okuggyako nga bavudde mu lutalo lw’e Gaza, Yisirayiri gy’ekubira aba Hamas.
Bombiriri bewera okuwamba mmeeri z’abazungu mu kwesasuza
era bazze bakikola kati ekirowoozebwa nti bayinza n’okuba bamanyi ku by’okubula kw’abajaasi ababiri.
Biden yalabudde nti ekiseera ekiddako mu kitundu ekyo kizibu n’alagira emmeeri z’ebyamaguzi zisooke zireke okuddamu okuyitayo.
Amerika ku wiikendi yakubye aba Houthi n’eyonoona enkambi zaabwe nabo ne balayira okwesasuza ate nga ne Iran mu kadde ke kamu eyongera kusimba mizayiro kwerinda Amerika.
Tekimanyikiddwa oba Iran ne Yemen balina engeri gye beenyigidde mu kubuzaawo abajaasi abo kyokka okunoonyereza kugenda mu maaso.
AB’EGGYE LYA NAVY SEALS BE BAANI
Eggye lya Navy SEALs lyetoololerwako eby’ekijaasi mu Amerika olw’okutendekebwa okw’enjawulo ennyo ku magye ga Amerika gonna era ly’erikutula misoni eziremye.
l Ekigambo ekyo kiggwayo nti, Navy Sea, Air, and Land Teams kubanga eggye eryo lirwanira mu ku gayanja, mu bwengula ne ku ttaka.
Omukutu gwa Wikipedia gulyogerako nga nantalemwa ate eggye eryetoololerwako ensonga ezisinga mu ntalo Amerika z’erwana mu nsi yonna.
l Lyatandika okukola n’amaanyi mu 1962.
Motto yaalyo y’ekakasa obuzibu bw’emirimu gyalyo kubanga egamba nti: “The Only Easy Day Was Yesterday” “It Pays To Be A Winner”. “Never Out Of The Fight”. Nti olunaku olwangu lwokka lwelwo lw’omazeeko, kisanyusa bw’otuuka ku buwanguzi ate topowanga lutalo.
l Egimu ku mirimu gyalyo egy’enjawulo ng’oggyeeko entalo ne misoni eziremye oba enzibu mulimu okulwanyisa obutujju, okuketta, okununula abawambe, okulwanyisa ebiragalalagala.
l Likolagana nnyo ne bambega ba FBI baketta mu Amerika n’aba CIA abaketta ebweru wa Amerika.
l Ezimu ku ntalo oba misoni ze bazze baluka ne ziwangulwa kale ne bwe ziba ziremye wadde ntono ezizze zibalema, zibeera nga firimu.
Emu ku misoni yaabwe enkambwe ekyasembyeyo ebadde ya kutta Osama Bin Laden gwe baasanga mu makage mu Pakistan ku nsalo yaayo ne Afghanistan gye yali adduse mu nsozi z’e Tora Bora.
Yali amaze akiseera ng’ayiggibwa olw’okuba emabega w’ekikwekweto bannalukalala b’akabinja kya Al Qaeda mwe baawambira ennyonyi za America ne baazitomeza ebizimbe ne batta abantu 3000 n’okusoba.
Eby’okutta Bin Laden yalinga firimu yennyini kuba obwangu n’engeri gye baayingira mu ggwanga lya Pakistan nga tetegedde yamalako bangi ebyewungula ate ne bakola buli kimu ne bavaayo nga tewali bategedde okuggyako oluvannyuma.
Bin Laden baamutta ne bafuluma n’omulambo. Wadde nnamukanga yaabwe emu yafunamu obuzibu nga batuuka mu kikomera kya Bin Laden, obutaleekawo kino okwewala okukoppa tekinologiya waayo n’ensonga endala, abakambwe bano era nayo yonna baagyeyokera n’efuuka vvu.