Enteekateeka z’okukola olw’e Nakawuka ziwedde
Jan 16, 2024
ABAKULEMBEZE mu disitulikiti y’e Wakiso ne Mpigi balaze okunyolwa olw’ebyapa by’abantu ebitwalibwa ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyokka ne bibulirayo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
ABAKULEMBEZE mu disitulikiti y’e Wakiso ne Mpigi balaze okunyolwa olw’ebyapa by’abantu ebitwalibwa ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyokka ne bibulirayo.
Bino baabitegeezezza minisita w’entambula n’emirimu Gen Katumba Wamala eyabasisinkanye e Wakiso okubategeeza ku nteekateeka z’okukola oluguudo lwa Nakawuka.
Omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Sseggona yagambye nti UNRA bw’efuna ebyapa by’abantu okusalako w’egenda okuyisa oluguudo, ate ebyapa bibulirayo n’ebirala ne bidda nga biri mu mannya malala.
Sseggona yawadde eky’okulabirako eky’oluguudo lwa Entebbe Expressway nti abatuuze be Kinaawa, Katale ne Nalumunye bangi bakyabanja ebyapa byabwe.
Sseggona era yanokoddeyo ekizibu ky’amakubo agakolebwa wabula ne gatateekebwako bugulumu bukendeeza ndiima ekivaako obubenje. Yawadde eky’okulabirako ky’oluguudo oluyita ku King’s College Budo.
Yasabye minisitule okuvaayo enogere olutindo lwa Buloba Nsangi eddagala kuba buli lukya lugwamu ne lusannyalaza ebyentambula.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yasabye wabeewo enkola ennuhhamu nga UNRA esaba abantu ettaka okuyisaawo enguudo kuba ebiseera ebisinga bangi balekebwa ebbali.
Yagambye nti ab’ebibanja abatalina byapa oluusi tebaliyirirwa ekibaleka mu bbanga.
RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi yasabye minisitule abatuuze bonna abali mu bifo awayita enguudo okubasasula n’abo abatalina byapa balabe engeri gye bayinza okubayambamu.
OKUKOLA OLUGUUDO LWA NAKAWUKA KUTANDIKA MWEZI GUJJA
Minisita Katumba Wamala yagambye nti oluguudo luno Pulezidenti yatongoza okulukola mu 2019 wabula tewabadde bulungi ssente, y’ensonga lwaki luluddewo.
Yagambye nti basoose kutegeeza bakulembeze ku nteekateeka eno nga tebannatandika kukola mwezi gujja omuli okusomesa abantu ku by’ettaka naddala wakati wa landiroodi n’omusenze.
Katumba yagambye nti oluguudo lwa Nakawuka lugenda kukolebwa kkampuni ya China Communications Construction Company Limited eyakola olwa Entebbe Expressway.
Dayirekita w’ebyenguudo n’entindo mu kitongole kya UNRA, Ying. Samuel Muhoozi yagambye nti oluguudo lugenda kumalawo obuwumbi 340 nga lwakukolebwa emyaka esatu (3).
Luwezaako kkirommita 72 nga lugenda kukolebwa okuva mu nkulungo ye Nakawuka okuli Kisubi - Nakawuka - Nateete (27km).
Ewalala Nakawuka-Kasanje-Mpigi (22km), Nakawuka-Mawagulu-Nanziga-Maya (11km), Kasanje-Buwaya (9km) ne Entebbe-Nakiwogo (3.5km) nga wonna kkoolaasi
No Comment