Kyagulanyi alagidde ababaka be obutakkiriza kuyisa mannya ga b'akakiiko ka byakulonda

Jan 16, 2024

Kiddiridde Pulezidenti okulangirira amannya g’abantu musanvu okukulira akakiiko k’ebyokulonda

NewVision Reporter
@NewVision

AKULIRA ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alagidde ababaka be obutakkiriza kuyisa mannya ga baakakiiko k’ebyokulonda agaalondeddwa Pulezidenti Museveni.

Kiddiridde Pulezidenti okulangirira amannya g’abantu musanvu okukulira akakiiko k’ebyokulonda okuli; Simon Byabakama nga ssentebe, Hajati Aisha Lubega omumyuka wa ssentebe, Robert Kasule Sebunya, Pamela Okudi, Anthony Okello, Stephen Tashobya ne Polof. Sallie Simba.

 

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti era omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi yagambye nti si beetegefu okukkiriza akakiiko akaalondeddwa kuba kyeragirawo nti balina kyekubiira.

“Abantu abaalondeddwa kumpi bonna ba kaada ba NRM abazze okussa mu nkola mukama waabwe buli ky’ayagala era tetugenda kubayisa mu kakiiko akasunsula,” Ssenyonyi bwe yaweze mu maaso ga Bobi Wine.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});