Islamabad, Pakistan
AMERICA etebuse Iran n’ekozesa Pakistan n’egikuba awabi. Pakistan limu ku mawanga omwenda agalina bbomu za nuukirya!
Pakistan yeekwasizza nti yabadde yeesasuza olwa Iran eyasoose okukuba mu Pakistan ku Lwokubiri n’egamba nti yabadde ekuba ab’akabiina ka Jaish al-Adl akagiyeekera nga kasinziira mu ggwanga eryo.
Pakistan ku Lwokusatu yakedde kukuba Iran n’ewa ensonga yeemu nti, waliwo akabiina k’abagiyeekera akasinziira mu pulovinsi ya Balochistan mu Iran, ke baakubye.
Enjawulo mu nnumba zombi, Pakistan yakozesezza amaanyi agaasinze ku Iran ge yakozesezza era enfo ze yakubye, yazisessebbudde okusinga ku Iran kye yakoze kati buli omu awawula mmundu.
Iran yakozesezza mizayiro n’ennyonyi ezeevuga zokka eza drone kyokka Pakistan yakozesezza mizayiro ezimu ku zisinga amaanyi ekika kya Ballistic enzito.
Mizayiro ezo zaakubye ebitundu eby’enjawulo mu Iran naddala pulovinsi ya Balochistan emu ku zisinga obunene nga zaavudde mu bitundu eby’enjawulo mu Pakistan mu ngeri eyabadde ng’erangirira olutalo.
Ekikwekweto kyatuumiddwa Marg Bar Sarmachar mu Luzungu ekitegeeza “death to the guerrilla fighters” (okusaanyaawo abayeekera).
Amawanga gombi gagamba nti gasse abayeekera be baayagadde okukuba kyokka amawulire ga Iran aga Tasnim, gagamba nti Gavumenti ya Iran na kati eyagala kutegeezebwa mu butongole ekyagikozesezzaako obulumbaganyi obwo erabe ky’ezzaako.
Katikkiro wa Pakistan, Anwaar-ul-Haq Kakar, ali mu lukiiko lwa World Economic Forum mu kibuga Davos nate nga minisita waayo ow’ensonga z’omunda, Jalil Abbas Jilani ali mu Uganda, basuubirwa okudda amangu ku butaka balabe ekiddako okusinziira ku mawulire ga CNN.
Iran egamba nti baagittidde abantu mwenda ate Pakistan egamba baagittira abaana babiri.
ENGERI OLUTALO OLWO GYE LWATANDISE
Lwatandikidde ku Iran kusimba mmundu bubeefuke ne Amerika bwe baneneng’ana ate ne kisukka Iran bwe yawambye emmeeri, St.
Nikolas eya America n’okwongera okuwaga bamasinale baayo aba Houthi mu Yemen okulwana ne America. Kino kye kyawalirizza Joe Biden okuwandiikira Iran ebbaluwa ng’agirabula.
Okuva lwe yaggyeeyo emmundu ez’amaanyi, Iran buli gw’esuubira nti tajaagaliza emukubamu.
Yasoose Iraq gye yakubye enfo za Yisirayiri ku Mmande ng’egamba nti ezikozesa okugibega n’ezzaako Pakistan, abamanyi ebyomunda we baagambidde nti, America we yafunidde omukisa Pakistan n’eyanukula ku lwayo.
Wadde Pakistan nayo terina nnyo nkolagana na mawanga g’Abazungu, erina enkizo ku Iran mu nkolagana n’amawanga ago ky’ova olaba yo yakkirizibwa okukola bbomu za nukiriya ate Iran bwe yagezaako, yassibwako natti z’ebyobusuubuzi, obutaweesa byakulwanyisa, obutabitunda, obutabigula n’okubigezesa.
Iran ensi gye yeepimyemu okukuba, erina bbomu za nukiriya era olutalo bwe lubalukawo luba nnamuzisa wadde Pakistan egamba nti, bbomu ezo yazikola kwetangira Buyindi nayo eyazikola okukuba Pakistan bwe balwanira agasozisozi g’e Kashmir nga buli omu agayita gage.
Okusinziira ku mawulire agaafulumira mu katabo ka Bulletin of the Atomic Scientists, Pakistan erina bbomu za nukiriya 170, Buyindi erina 164. Ge gamu ku mawanga omwenda agalina bbomu ezo mu nsi yonna.
Singa olutalo lwa Iran ne Pakistan lusajjuka nga bwe lwatandise, bbomu emu ku ezo Pakistan ze yakolera Buyindi esobola okukuba ekibuga Tehran ekya Iran.
Ekyo kiba kiwewudde America obutagenda mu lutalo luli butereevu na Iran.
Iran muliraanwa wa Pakistan ate eggwanga eryo muliraanwa wa Buyindi