Omukazi omulala attiddwa e Ssembabule

Jan 19, 2024

OMUKAZI omulala e Ssembabule asangiddwa mu nnyumba ng’attiddwa. Ono awezezza omuwendo gw’abakazi basatu abattiddwa mu kitundu kino.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKAZI omulala e Ssembabule asangiddwa mu nnyumba ng’attiddwa. Ono awezezza omuwendo gw’abakazi basatu abattiddwa mu kitundu kino.
Promise Najjuuko 30, omutuuze mu Market zzooni mu Town Council ye Ssembabule ye yattiddwa.
Abadde yava Kawoko - Bukomansimbi. Kiteeberezebwa nti yattiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuna kubanga waliwo abaamulabyeko, eggulolimu. Abatuuze baalaze okutya olw’ettemu erisusse mu kitundu kino ne basaba gavumenti okubataasa. Baagambye nti bukya abakazi bano batandika kuttibwa, abeebyokwerinda tebavangayo
kubabuulira kivaako ttemu. Bagamba nti amasannyalaze agavaako buli kiseera nago
gavaako obumenyi bw’amateeka okweyongera. Ssentebe wa Town Council ye Ssembabule, Jude Kasekende yagambye nti amasannyalaze gaafuuka ekizibu n’asaba ab’ekitongole kino okubaako kye babakolera. Poliisi yatutte embwa ezikonga olusu okunoonyereza kyokka tewali kye zaazudde. Amyuka RDC, Faisal Seruwagi agambye nti
bagenda kwiongera okunoonyereza ku kivaako ettemu lino bakisalire amagezi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});