Bya Dickson Kulumba
OMUGGAZI omukulu ow’Amasiro g’e Kasubi, Mulamba Paul Musiitwa, akyusizza
Kino yakikoze ng’alinga gwe boogerako atunda omwoyo ng’emira ensanafu, anti nga yenna alinga amaze okusonda ag’omu buto, yategeezezza Katikkiro Charles
Peter Mayiga ku Lwokutaano nti w’abadde ayingirira n’okufuluma amasiro wakyamu.
Mulamba yasabye Katikkiro nti: “Mukama wange nnina ensonga gye njagala okukubuulira; okuva na leero nsaba oleme kuddamu kukozesa kkubo liva Bulange okuyita e Nabulagala okutuuka ku masiro.
“Ate bw’otuuka wano nkusaba okomye okukozesa omulyango guli (Kiryangokibi)
kubanga ogwo gwe gufulumya n’okuyingiza abafu wabula okozese Wankaaki
okuyingira kubanga obeera weetisse obubaka obukulu okuva eri Kabaka,” Mulamba
eyabbiridde omukka gw’ekiwuggwe ng’amaliriza bwe yabuulidde Mayiga eyabadde
amwegese amaaso.
Amangu ago, Mayiga yayise abavunaanyizibwa ku ntambula ze n’agamba Mulamba nti “nnyonnyola abo be bavunaanyizibwa ku kundeeta wano.”
Mulamba era yeekakabye mu kiseera ekyo n’akyusa n’engeri Katikkiro oba
omugenyi omukulu yenna ntiye kennyini y’alina okumwaniriza amangu ddala nga
yaakatuuka, ye (Mulamba) n’amuwerekera okuyita mu nju Bujjabukula, oluvannyuma
n’amukwasa ababeera bamulindiridde.
Katikkiro Mayiga yagambye nti yabadde amanyi nga Wankaaki bw’alina okuyitamu
Kabaka yekka, kyokka n’amugamba nti Wankaaki ayitibwamu balamu bokka.
Abatambuza Katikkiro baatandikiddewo okubiteeka mu nkola n’afulumira mu
Wankaaki.
Bukedde oluvannyuma yayogeddeko ne Mulamba ku nsonga zino n’ategeeza nga bw’aludde nga tafuna buvumu okubuulira abantu ekituufu ng’ennono eno
etambuzibwa mu bukyamu ate ng’alowooza nti alina kukibuulira Katikkiro yennyini.