Amawulire

Sipiika Among yeewuunyizza abasajja abadduka ku bakyala ababeera bazadde abaana abangi omulundi ogumu

SIPIIKA wa palamenti, Anita Among yeewuunyizza abasajja abasuulawo abakazi baabwe olw’okubanga babazaalidde abaana abangi omulundi gumu n'agamba nti abantu ekika ekyo abadduka emikisa Katonda gy'abeera abawadde ate ne bejjusa.

Sipiika Among ng'asitudde ababiri ku baana ba Hajji Kalema, wakati ye Nnaalongo Kayaga .jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya  Edith Namayanja

SIPIIKA wa palamenti, Anita Among yeewuunyizza abasajja abasuulawo abakazi baabwe olw’okubanga babazaalidde abaana abangi omulundi gumu n'agamba nti abantu ekika ekyo abadduka emikisa Katonda gy'abeera abawadde ate ne bejjusa.

Ono okwogera bino abadde asisinkanye ffamire ya Hajji Bashir Kalema (50) nga mukyala we Sophia Kayaga (36) yazaala abaana basatu omulundu gumu nga tebannatuuka ( ku myezi musanvu) wabula nga bano okubatuusa webali bubadde bugubi, kisa kya Katonda n'abazirakisa abazze babayamba.

Among agambye nti abasajja bangi badduka ne balekera abakyala obuvunaanyizibwa ne batoba n’abaana kyokka bwe bafuuka abantu ab’omugaso ne beekomyawo.

Ono akutuutidde abafumbo bano okwagala okukola kubanga kati balina abaana 8 be balina okukolerera n'abakubiriza n’okukozesa enkola ey’ekizaalaggumba ng' abawadde obukadde 10 okubayambako mu kutandika emirimu.

Omulwanirizi w’eddembe ly’abakyala, Miria Matembe nga yazze ayambako bano okufuna obuyambi agambye nti obuvunaanyizibwa bano balina bungi ate nga n’emirimu tebalina nga y’ensonga lwaki yabaleese ewa sipiika kubanga tayinza kuleka baana bato kudaaga.

Hajji Kalema yeebazizza nnyo Matembe olw’okubabeerawo n’okubanoonyezza obuyambi buli wamu era n'agamba nti si waakusuulirira ffamire ye.

Tags:
Sipiika Among
abasajja
abadduka
bakyala
abazaala
abaana
abangi