ABASISITA okuva mu kibiina kya ‘The Daughter of Divine Charity’ bakubye ebiragaano by’olubeerera ng’omukolo gwabadde Kagando - Nyakayojo e Mbarara.
Abasisita abaakubye ebiragaano ye; Janseta Nemusiima okuva e Kakoma - Isingiro, Katherine Ayimbisibwe okuva Rushoka, Ntungamo ne Flora Okuda Achengi kuva e Abimu mu Kotido.
Omukolo gwetabiddwaako Ssaabasumba w’essaza ly’e Mbarara, Dr. Lambert Beinomigisha, omusumba w’essaza ly’e Kotido, Dominic Oyobu, n’akulira ekibiina kya Divine mu Uganda, Sr. Alaide Miyoro.
Ssaabasumba Beinomigisha yeebazizza omutandisi w’ekibiina kino Mother Franziska Lechner