Amawulire

Eyasibira bba mu mmotoka n’amukumako omuliro kkooti emuyimbudde

OMUKAZI agambibwa okuyiira bba amafuta ga petulooli n'amukumako omuliro ng' ali mu mmotoka nnamba UAV 576V aleeteddwa mu kooti kyokka n'ateebwa ku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu.

Nalubega ku kkono ate ku ddyo ye Kibirige n'ebiwundu mu ddwaaliro lya MJ.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Wasswa b. Sentongo

OMUKAZI eyayiira bba amafuta ga petulooli n'amukumako omuliro ng' ali mu mmotoka nnamba UAV 576V aleeteddwa mu kooti kyokka n'ateebwa ku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu.

Aisha Nalubega 27 y'asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti e Matugga Praise Ahuhire n'asomerwa okusango ogw’okugezaako okutta omuntu n'agukkirizza kyokka oluvannyuma kkooti n'emuyimbula ku kakalu kaayo.

Nalubega aleeteddwa mu kkooti nga yenna yeebisse oluvannyuma ly’okukitegeera nti mu kifo waleeteddwa waliwo bannamawulire nga kkooti bw'ebadde tennatuula, omuwaabi wa Gavumenti Justine Nakayiza asoose kukubira bba Hasan Kibirige essimu mu ddwaaliro gy'ali e Kiruddu n'amusaba mukazi ateebwe agende alabirire abaana era era omuwaabi wa Gavumenti n'ava mu musango guno.

Nalubega Bw'azze Nga Yeebikkiridde Mu Kkooti.

Nalubega Bw'azze Nga Yeebikkiridde Mu Kkooti.

Kooti etudde era omulamuzi Ahuhire n'akkiriza Nalubega yeeyimirirwe ng'aleese abamweyimiridde babiri, nga buli omu waakusasula obukadde butaano ezitali za buliwo nga ye Nalubega waakusasula akakadde kamu akobuliwo era kkooti n'emuyimbula.

Mu kwogerako ne Kibirige ku ssimu agambye nti ekimuwalirizza okukkirizza mukazi we okuyimbulwa kwe kubeera nga balina endagaano gye baakola ku poliisi ey’okuzzaawo emmotoka ssaako n’okugenda okulabirira abaana kuba tewali abalabirira era nti wadde amuyimbudde omusango gukyaliwo nga si waakugenda mu maaso n’okulabirira abaana kuba ssente zeyandibadde amuwa zonna zaweddewo.

Omusango oguvunanibwa Nalubega yaguza ng' ennaku z’omwezi 18 omwezi gwa January ,Kibirige bw eyali ku Mabanda e Matugga ng' abala ssente zeyali akoze ne zireeta mukyala we gw'alinamu abaana babiri n'amusibira mu mmotoka era ekyaddako kwe kugiyiira amafuta ga petulooli okukkakkana ng' agikumyeeko omuliro nadduka era poliisi yamukwatidde Nsangi gye yabdde yekkukkumye.

 

Tags:
eyasibira
bba
mmotoka
muliro
ayimbuddwa