Amawulire

Minisita wa Kabaka akooneddemu kalenda za Bukedde

MINISITA w’amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Isreal Kazibwe Kitooke asiimye kalenda ya Bukedde eyafulumiziddwa ne yeebaza Olupapula lwa Bukedde olufulumizibwa Vision Group olw’okutumbula olulimi Oluganda.

Minisita wa Kabaka akooneddemu kalenda za Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA w’amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Isreal Kazibwe Kitooke asiimye kalenda ya Bukedde eyafulumiziddwa ne yeebaza Olupapula lwa Bukedde olufulumizibwa Vision Group olw’okutumbula olulimi Oluganda.

Yagambye nti, kalenda eno eggyeeyo bulungi emyezi egiri mu mwaka nga girambikiddwa mu lulimi Oluganda kye yagambye nti kyakuyamba abantu baffe okuyiga n’okumanya emyezi nga bwe tugyogera mu Luganda.

Kalenda za Bukedde zifunibwa ku 5,000/- era zaateereddwaako obubaka obubuulirira ku nsonga ez’obulamu okuli omukwano, obulamu obulungi n’ebirala.

Jacinta Kaganda Kemigisa (wakati) Akolera Ku Nkurumah Road Ng’aguza Abasajja Kalenda Za Bukedde.

Jacinta Kaganda Kemigisa (wakati) Akolera Ku Nkurumah Road Ng’aguza Abasajja Kalenda Za Bukedde.

Okufulumya kalenda eno, aba Bukedde beegasse n’amatendekero ga St. Francis Schools of Healthy science agasomesa abasawo abatuukiridde.

Bruce Byaruhanga, akulira okutunda amawulire ga Vision group, yasiimye abantu abettanidde okugula kalenda zino ennyuvu era naayongera okukunga abalala okuzijjumbira.

Ayagala okugula kalenda zino ogenda ku kifo awatundibwa amawulire gaffe ate abaagala mu bungi osobola okukuba ku nnamba y’essimu eya 0782800840 tukukolere enteekateeka ezikutuusaako ate nga waliwo n’omukisa ogw’okulabikira ku mikutu gyaffe egy’enjawulo bw’ogula mu bungi.

Tags:
Buganda
Oluganda
Vision Group
Bukedde
Isreal Kazibwe Kitooke