Amawulire

Okusiibula Dr. Luyombya: Haji Kigongo ayambalidde abatasiima Gavumenti

HAJI Moses Kigongo, omumyuka asooka owa Ssentebe wa NRM ayambalidde abantu abatasiima Gavumenti ya NRM by’ekoze.

Okusiibula Dr. Luyombya: Haji Kigongo ayambalidde abatasiima Gavumenti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

HAJI Moses Kigongo, omumyuka asooka owa Ssentebe wa NRM ayambalidde abantu abatasiima Gavumenti ya NRM by’ekoze.

Yagambye nti wadde waliwo ebintu ebikyabulayo okuddizibwa Obwakabaka naye wateekwa okubeerawo okusiima kw’ebyo ebikoleddwa n’asaba wabeerewo obukkakkamu n’okwolesa omwoyo gw’okuteesa, okufuna ebyo ebikyabulayo.

Yabadde mu Lutikko e Namirembe ku Lwokusatu mu kusaba okw’okwebaza olw’emirimu gy’omugenzi Dr. Jack Mukiibi Luyombya Ssengero, ng’ono abadde mubaka wa Kabaka mu Lukiiko lwa Buganda.

Buganda ebanja gavumenti eya wakati ebintu ebiwerako okuli ensimbi ez’obupangisa ku bizimbe, ettaka, enfuga ya Federo n’ebirala bingi ebyaggyibwawo mu 1966 era nga Dr. Luyombya bye byamutwala mu lutalo okwegatta ku Pulezidenti Museveni.

Yasiimye omugenzi olw’okwagala ennyo Obwakabaka bwe kyokka n’ensi ye Uganda ng’agyagala n’agamba nti abadde asukka ku ndowooza y’abamu abalowooza nti Buganda ne Uganda buli kimu kiri ku byakyo.

Ebyo yabyogedde oluvannyuma lw’Omutaka Ying. Allan Waliggo Nakirembeka, akulira ekika ky’Omutima omusagi okulaga okunyolwa nti wadde omugenzi yeetaba mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza, naye bingi ebikyabanjibwa.

Obwakabaka bwakiikiriddwa Patrick Mugumbule ng’ono ye yatuusizza obubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga eyatenderezza omugenzi olw’okwetaba obutereevu mu nteekateeka z’okuzzaawo Obwakabaka ate n’amwebaza n’okuweereza Obuganda mu ngeri ez’enjawulo okuli okuwanga ebirowoozo ebirungi mu Lukiiko.

Okusaba kwakulembeddwa Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, George Ssinabulya.

Dr. Luyombya alese Nnamwandu Florence Namayanja Luyombya, abaana n’abazzukulu era yaziikiddwa ku kyalo Busaale - Mubende e Buweekula ku Lwokuna.