Abasuubuzi b'ente babassizza masasi

POLIISI n'amagye mu bitundu by' e Karamoja babakanye n'omuyiggo gw'abatemu ab'emmundu abatannategeerekeka abakkakkanye ku basuubuzi b'ente 4 ne babasasira amasasi agaabattiddewo ne babulawo n'ebisawo omwabadde ssente ezitannamanyika muwendo.

Amaka ga Umaru Bunyota (mu katono) eyattiddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Abasuubuzi #nte #babassizza #masasi

Bya Faisal Kizza

POLIISI n'amagye mu bitundu by' e Karamoja babakanye n'omuyiggo gw'abatemu ab'emmundu abatannategeerekeka abakkakkanye ku basuubuzi b'ente 4 ne babasasira amasasi agaabattiddewo ne babulawo n'ebisawo omwabadde ssente ezitannamanyika muwendo.

Abasuubuzi abattiddwa ye; Umaru Bunyota 34, omutuuze w'e Namunsi mu ggombolola y'e Nakaloke mu Northern Division mu Mbale City, Umaru Walime 40, ow'e Nakaloke Zzooni ll, Abasi mubajje 28 ne Aramadhani Bboyi 25 nga bonna batuuze b’e namunsi mu Mbale.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Mt. Moroto, Mike Longole ya­gambye nti obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Ssande ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo, ng'abasuubuzi baabadde batambulira mu mmo­toka Harrier nnamba UBP 601 Q ku kyalo Akonguyo mu ggombo­lola y'e Amudat mu disitulikiti y'e Amudat ku luguudo oluva Amudat okudda e Moroto.

Agamba nti abalumbaganyi baabadde batambulira ku pikipiki era nga baayimirizza emmotoka abasuubuzi mwe baabadde, omulumbuganyi  kwe kuggyayo emmundu n'alagira Bunyota eyabadde avuga okufuluma era olwabadde okufuluma n'amukuba amasasi agaamusse.

Yalumbye abaabadde basigadde mu mmotoka nabo n'abakuba amasasi agabattiddewo olwo ne babulawo n' ekisawo kya ssente naye essimu zaabwe tebaazitutte.

Abatuuze abenjawulo boogedde ku bagenzi naddala Bunyota ng'abadde omuntu we nkulaaku­lana ayagaliza buli omu naddala abavubuka kubanga bangi baakutteko ssaako okubafunira emirimu.

Bagamba nti abadde ayamba nnyo abateesobola omuli abakadde ne bamulekwa.

Abadde musuubuzi wa maanyi era baamukubidde essimu nga bamuyitira ente 100 era ze ssente ze yabadde asitudde.

 Engeri mu disitulikiti eziri okumpi ne Mbale okuli Bukedea ne Kumi bwe zibaddeko kalantiini ng'ebisolo babadde babinoonya Karamoja.

Nasibu lguru muganda  w'omugenzi Bunyota agamba nti baabadde bagenda okulaba aba­genzi oluvannyuma lw' okufuna essimu ebabikira, kyokka nabo bwe  baatuuse mu kkubo nga banaatera okutuuka Amudat ab'emmundu  ne bagezaako okubalumba era baakubye amasasi ku mmotoka yaabwe, naye engeri gye baabadde bagumu baasobodde okusimattuka ne basula ku dditaaki y'amagye eri mu kitundu kino.

Ku kyalo Namwigalo mu ggombolola y'e Nakaloke mu kwaziirana olw' okuviibwaako omuntu waabwe era babadde balinda mirambo gy’abantu baabwe egibadde teginnatuusibwa okuva e Amudat.