Obwakabaka bukungubagidde muwala wa Dr. Sarah Nkonge
Feb 07, 2024
GYABADDE miranga na kwaziirana mu Mmisa y’okusabira Munna-mateeka era muwala wa Dr. Sarah Nkonge, Ritah Pauline Namirembe Muwonge 32, eyafudde ekibwatukira.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
GYABADDE miranga na kwaziirana mu Mmisa y’okusabira Munna-mateeka era muwala wa Dr. Sarah Nkonge, Ritah Pauline Namirembe Muwonge 32, eyafudde ekibwatukira.
Mmisa yabadde ku Klezia ya St. Agnes e Makindye nga yeetabid-dwako ebikonge mu gavumenti ya wakati, ey’e Mengo, abagagga b’omu Kampala n’abantu abalala abaalaze ennyiike olw’okufa kwa munnama-teeka abadde omuto ennyo.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Hajji Twaha Kawaasi ye yakiikiridde Obwakabaka bwa Bu-ganda n’asaba abazadde okulabira ku Dr. Sarah Nkonge nga bakuliza abaa-na mu mpisa.
Ayogedde ku mugenzi ng’aweerezza Buganda mu bitongole okuli ekya bulungibwansi, Naba-gereka Foundation, eby’emizannyo n’ebitongole ebirala.
Yagambye nti buli muntu eyali azadde ku mwana amanyi Dr. Sarah Nkonge ky’ayitamu mu kiseera kino kubanga okugenda ku mukolo ng’omwana wo y’akuvuga nga mul-amu bulungi ne muvaayo n’atuukira mu ddwaaliro era n’afa nga tewayise wadde olunaku si kintu kyangu.
Dr. Nkonge ng’ayogera mu Klezia yakaabizza abakungubazi bwe yategeezezza nti bwe baavudde ku mukolo nga muwala we tawulira bulungi baatuukidde mu ddwaaliro lya Dr. Makanga e Kajjansi kubanga y’abadde dokita we okumala eki-seera n’amuteekako ecupa wabula baabadde baakamuteekako eyooku-biri ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro n’afa.
“Nnina abaana mukaaga naye ono Ritah y’abadde asinga okubeera nange era nga y’anvuga n’okunnyambako ku mirimu gyange emirala era y’abadde looya wa ffamire,” Nkonge bwe yategeezezza. Okusaba kwetabiddwako Minisita omubeezi ow’ebyobulamu, Margaret Muhanga, abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda, ababaka ba palamenti okuli Allan Ssewanyana ne Gonzaga Ssewungu, abagagga aba Kwagalana n’abalala.
Eggulo omulambo gwasuze mu maka ga kitaawe omugenzi Francis Zavier Muwonge e Kajjansi gye banaamuggya leero okumutwala e Kiwangala - Ndagwe e Masaka bamuziike ku ssaawa 10:00.
No Comment