Abasuubuzi b’ente 4 abattidwa e Karamoja baziikiddwa Mbale

ABASUUBUZI b’ente 4 abattiddwa mu bitundu by’e Karamoja bwe baabakubye amasasi mu mmotoka mwe baabadde batambulira, baziikiddwa.

Abasuubuzi b’ente 4 abattidwa e Karamoja baziikiddwa Mbale
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI b’ente 4 abattiddwa mu bitundu by’e Karamoja bwe baabakubye amasasi mu mmotoka mwe baabadde batambulira, baziikiddwa.

Abagenzi; Umaru Bunyota 34 ow’e Namunsi mu ggombolola y’e Nakaloke mu Northern Division mu Mbale City, Umar Walime 40, ow’e Nakaloke zone II, Abasi Mubajje 28, ne Aramadhan Bboyi 25, b’e Namunsi mu Mbale baasoose kubasaalira mu kifo kimu e Namunsi olwo ne baziikibwa buli omu gy’asibuka ku byalo Namunsi ne Nakaloke ku Mmande.

Okusaala kwakulembeddwa Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje eyalaze obwennyamivu olw’ettemu erigenda mu maaso mu ggwanga n’alaga obutali bumativu n’engeri abakuumaddembe gye bakuttemu amateeka nga gongera batemu maanyi kubanga bakola ebikolwa by’effujjo ne batta abantu ne basigala nga balya butaala.

Abantu ab’enjawulo beetabye mu kusaalira abagenzi okwabadde n’omumyuka wa RCC owa Northern Division, Yahaya Were eyagambye nti abeebyokwerinda balina we batuuse mu kunoonyereza nga beeyambisa amasimu g’abagenzi ssaako emmotoka mwe baabadde batambulira ekyali ku poliisi ye Amudat.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Moroto, Mike Longole yagambye nti, obulumbaganyi omwafiiridde abasuubuzi bwabaddewo ku Ssande ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo ng’abasuubuzi baabadde batambulira mu mmotoka Harrier nnamba UBP 601Q ku kyalo Akonguyo mu ggombolola y’e Amudat mu disitulikiti y’e Amudat.