OMUWANDIISI w"Obulabirizi bwa Kampala Rev Camon John Awodi atenderezza omugenzi Ssabalabirizi Janan Luwum olw"okuvaayo n"ayatulira abakulembeze abaali beegumbulidde okutirimbula abantu ne kimuviirako okuttibwa n"asaba bannaddiini abalala n'abakulembeze okumulabirako.
Asinzidde ku ssommero St. Janan Schools e Luweero mu kujjukira Ssabalabirizi Luwumu era nga ye muyima waabwe agambibwa okutirimbulwa Idi Amin ng"amulanga kuwakanya bikolwabye omwali okutta n'okubuzaawo abantu okwali kukudde ejjembe mu ggwanga.
Can Awodi avumiridde abakulembeze b"ensangi zino abatafa ku kulwanirira banyigirizibwa, abalya enguzi n'abagulira abantu okubawa obululu n'asaba abantu okweyisa obulungi bakolerere obulamu bw"eggulu kuba kunsi bagenyi.
Dayirekita wa Janan Schools Mike Kironde asabye abakulembeze okulwanyisa obutali bwenkanya kuba buyinza okuzza eggwanga mu matigga.
Aba Janan Ps Nga Basinza