Azimba ennyumba n’otomaliriza kola bino obutafiirwa
Feb 18, 2024
JUMA Ssempala, 34, omutuuze w’e Kyengera - Wakimese mu Kyengera Town Council yatandika okuzimba mu January wa 2021, e Maya mu Wakiso. Bwe yali agenda okuzimba yasooka kugula matiriyo okuli omusenyu ne bbulooka ebyali bimubaliddwa omuzimbi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
JUMA Ssempala, 34, omutuuze w’e Kyengera - Wakimese mu Kyengera Town Council yatandika okuzimba mu January wa 2021, e Maya mu Wakiso. Bwe yali agenda okuzimba yasooka kugula matiriyo okuli omusenyu ne bbulooka ebyali bimubaliddwa omuzimbi.
Yasitula ennyumba ya bisenge bina kyokka yamaliriza atuusizzaako bisatu waggulu
olw’amatoffaali okumuggwaako ng’ennyumba eri ku mutendera gwa madirisa. Ono olw’okuba bodaboda yali avuga ya mukama we baafuna obutakkaanya n’agimuggyako ate nga mwe yali aggya ssente ez’okuzimba.
Embeera eno yamuviirako okuwanvuya ebbanga lye yali ateeseteese okuyingiriramu
ennyumba ye.
Ssempala agamba nti, yali agenze okulambula ku nnyumba ye eno ezimbibwa mu June
w’omwaka oguwedde n’asanga nga waliwo omuntu eyafuula ekimu ku bisenge bye amaka ng’ono yali yakuba amabaati mu ddirisa n’oluggi oluyingira ekisenge. Ekisenge ekirala yakifuula kinaabiro era ng’amazzi gatandise okwonoona ebisenge. “Embeera eno yampaliriza okwekubira enduulu mu boobuyinza abannyamba okukwata omusajja eyali ateeberezebwa okubeera mu kabinja akaali katigomya ekyalo. Kino kyampalirizza okwewola ssente ne ngula enzigi n’amadirisa ne nzigala ennyumba yange.” Ebintu ebifaanana nga bino n’ebirala bikolebwa mu mayumba g’abantu agatannaggwa nga
n’ezimu ekiro waliwo abazifuula loogi n’ebirala.
Leero abakugu bakulaga engeri ennyumba ezitannaggwa gye ziyinza okuteeka ebyokwerinda by’ekitundu mu matiga n’engeri gy’oyinza okwewala ebizibu nga bino ssaako engeri gy’otaasa ennyumba yo okwonooneka ku mitenderea egy’enjawulo nga tennaggwa.
1Ying. Muhammad Nsereko owa 3M Designs Construction agamba
nti, okwewala ennyumba yo okusaalimbirwamu abantu abakyamu, okugikoleramu
ebikolobero, okuyiwamu kasasiro, abaana okuzannyiramu n’ebirala nga tonnaba kusalawo mutendera gwonna kw’ogikomya,waliwo ebintu ebitalina kubuusibwa
maaso. 2Yannyonnyodde nti, abantu abasinga bwe babeera batandika okuzimba ebintu ebisinga bitambula bulungi naye wakati abamu bafuna okusoomoozebwa okw’enjawulo
nga ssente okuggwaawo, enkaayana z’ettaka, okubbibwa abazimbi n’ebirala. 3Bino biyinza okuvaako pulojekiti y’okuzimba okuyimirira ku mutendera gwonna ennyumba kw’eba eri. Nsereko agamba nti, bw’oba osazeewo ennyumba kugireka ku musingi omuntu yandibadde afuba okulaba ng’omusingi gw’ennyumba gwonna guzimbibwa ne guggwa era ne guteekebwamu n’ettaka. 4Singa omuntu asalawo okuzimba ennyumba mu biwagu, okuva ku musingi okugeza okusitulako ekisenge ekimu ekimu kiyinza
okuvaako ennyumba okujjamu enjatika olw’obuzito obubeera bwekubidde. Embeera eno bwetuuka ku muntu azimba mu lutobazzi oba mu kifo awalekinnya okugeza kaabuyonjo abeera ali mu buzibu obutayinza kusalirwa magezi okuggyako okumenya
ennyumba yonna. 5Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde omusana n’enkuba bikosa ennyumba ku mitendera gyonna era ono agamba nti, omuntu bw’aba alemereddwa nnyo
yandifubye okulaba nti, ennyumba waakiri agiwummuza ng’amaze okusiba bbiimu ng’eno erina okwetooloozebwa ennyumba yonna okwewala ebisenge okutambula mu
mbeera ya kibuyaga. Bbulooka ezisemba waggulu ku bbiimu y’ennyumba zirina
okubeera nga zaggya bulungi okwewala okukulukuta. Abazimba kalina ne bazireka
mu misingi emirundi egisinga bwe watabeera bukuumi ababbi mitayimbwa bagisala nga mu mbeera eno w’otuukira okuddamu okuzimba oba weetaaga okuddamum okusima oteekemu emitayimbwa emirala. 7Ennyumba singa ogisereka n’otogiggala okumala ebbanga eddene, esobola okutikkukako akasolya singa wabaayo omuyaga ogw’amaanyi. Mu kifo kino kiyinza okuvaako abantu abaliraanye, okufiirwa obulamu. 8Abazimbisa bbulooka za ssementi ezaakazibwako erya 9x9, Nsereko agamba nti, ennyumba zaabwe zifuna nnyo obuzibu kubanga bbulooka zino enkuba gy’ekoma okuzikuba, n’okunnyuukirira ne zitandika okuseebengerera. Embeera eno etera n’okutwaliramu abakozesa bbulooka z’ettaka naddala nga tezaggya bulungi. 9Kikyamu omuntu okuleka ennyumba ye nga tagiggadde kubanga kiwa ab’ensaalwa n’abamenyi b’amateeka okugikoleramu buli kimu kyeekinnya okugeza kaabuyonjo abeera ali mu buzibu obutayinza kusalirwa magezi okuggyako okumenya ennyumba yonna. 5Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde omusana n’enkuba bikosa ennyumba ku mitendera gyonna era ono agamba nti, omuntu bw’aba alemereddwa nnyo yandifubye okulaba nti, ennyumba waakiri agiwummuza ng’amaze okusiba bbiimu ng’eno erina okwetooloozebwa ennyumba yonna okwewala ebisenge okutambula mu mbeera ya kibuyaga. 6Bbulooka ezisemba waggulu ku bbiimu y’ennyumba zirina okubeera nga zaggya bulungi okwewala okukulukuta.
Abazimba kalina ne bazireka mu misingi emirundi egisinga bwe watabeera bukuumi babbi emitayimbwa bagisala nga mu mbeera eno w’otuukira okuddamu okuzimba oba weetaaga okuddamu okusima oteekemu emitayimbwa emirala. 7Ennyumba singa ogisereka n’otogiggala okumala ebbanga eddene, esobola okutikkukako akasolya singa wabaayo omuyaga ogw’amaanyi. Mu kifo kino kiyinza okuvaako abantu abaliraanye
okufiirwa obulamu. 8Abazimbisa bbulooka za ssementi ezaakazibwako erya 9x9, Nsereko agamba nti, ennyumba zaabwe zifuna nnyo obuzibu kubanga bbulooka zino enkuba gy’ekoma okuzikuba n’okunnyuukirira ne zitandika okuseebengerera. Embeera eno etera n’okutwaliramu abakozesa bbulooka z’ettaka naddala nga tezaggya bulungi. 9Kikyamu omuntu okuleka ennyumba ye nga tagiggadde kubanga kiwa ab’ensaalwa
n’abamenyi b’amateeka okugikoleramu buli kimu kye
By’olina okukola okukuuma ekizimbe kyo ku mutendera kw’oba owummulidde
YING. Fred Lutaaya yannyonnyodde nti, nga tonnayimiriza mu kuzimba, olina okulowooza ku bbanga ly’osuubira okuddamu okuzimba. Oluvannyuma lw’okuyiwa siraabu, wandibadde oyiwako amazzi n’omusenyu ogutaliimu
ssementi singa oba waakuddamu okuzimba mu bbanga eritali lyewala. Guno guyamba empewo okuyitamu okusobola okukaza enkokoto.
Ayongerako nti, singa kiba kinaatwala ebbanga ddene okuddamu, oyinza okukuba pulasita ew’ekiseera n’okubikkako obuveera ekitangira omusana n’enkuba okutuuka obutereevu ku kizimbe kyo.M talina busobozi bufuna mabaati kuziba bituli bya madirisa na nzigi osobola okukozesa bbulooka, embawo oba emiti.
ADDAMU OKUZIMBA WEETEGEREZE BINO
Ebikolebwa byawukana okusinziira ku mutendera ennyumba weebera yakoma. Singa ennyumba eba yakoma ku musingi, amadirisa oba bbiimu ne weesanga nga
waliwo bbulooka ezaakulukuta, kyandibadde kirungi okusooka okuziggyako n’oteekako endala nga tonneeyongerayo.
Ennyumba bw’oba wagituusa ku woolo puleeti si kirungi okukomererako emiti nga tonnaba kufuna mabaati. Enkuba bwekuba emiti gino ate ne gyakako omusana gyonooneka n’okukyama oba okuvunda.
Akkaatiriza nti, nga tonnaba kuddamu kuzimba, osaanye okusooka okukebera enjatika n’obuzibu bwonna bw’eba efunye.
ENGERI GYE WEEWALA OKUFIIRIZIBWA
Ying. Lutaaya agamba nti, okwewala okudda emabega, kyandibadde kirungi omuntu ategeka okuzimba okusooka okukuba pulaani n’okumanya ebyetaagisa ku mitendera gyonna. Kirungi okubeerawo ne ssente z’ebigwabitalaze ng’ozimba
olw’enkyukakyuka mu miwendo gy’ebintu. Okukozesa abazimbi abalina obukugu n’okufaayo okulondoola ebikolebwa ku sayiti okwewala okubbibbwa n’okufiirizibwa ssaako okugoberera okuwabulwa kw’abakugu ku buli mutendera
No Comment