Amawulire

Makerere efudde ennyumba ya Muteesa ekkaddiyizo ly'ebyafaayo

KABAKA Muwenda Mutebi II yeebazizza yunivasite y’e Makerere olw’okufuula enju kitaawe Ssekabaka Muteesa II gyeyasulangamu ng’asoma,ekkaddiyizo ly’ebyafaayo.

Abaklungu okuva mu Buganda n'abakungu okuva mu ssettendkero e Makerere nga bakutte ekifaananyi kya Muteesa
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Muwenda Mutebi II yeebazizza yunivasite y’e Makerere olw’okufuula enju kitaawe Ssekabaka Muteesa II gyeyasulangamu ng’asoma,ekkaddiyizo ly’ebyafaayo.

Obubaka buno yabutisse Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga ku mukolo gw'okuggulawo ekkadiyizo ogubadde ku yunivasite e Makerere  leero.

Ekifaanayi ekiraga ekkaddiyizo ly'ennyumba ya Sir Edward Muteesa II

Ekifaanayi ekiraga ekkaddiyizo ly'ennyumba ya Sir Edward Muteesa II

“Nneebaza yunivasite y’e Makerere olw’okuteekawo myuziyamu mu kujjukira emirimu egy’ettendo egyakolebwa Ssekabaka Muteesa II. Egenda kukola kyamuwendo okukuuma ebyo byeyakola ate n’okutumbula obulambuzi,” Nnaalinya Nabaloga bwasomye obubaka bwa Kabaka.

Omukolo guno gwakwataganye n’okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’ennimi enzaliranwa era Kabaka mu bubaka bwe akubirizza abantu okufaayo bulijjo okukozesanga ennimi zaabwe enzaliranwa era ne yeebaza ettendekero lino okuyingiza abavubuka mu nteekateeka z’olunaku luno n’agamba nti kyakuyamba okukuuma ennimi zino olubeerera.

Katikkiro Mayiga ne team ye yonna nga bali e Makerere

Katikkiro Mayiga ne team ye yonna nga bali e Makerere

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeebazizza yunivasite eno olw’okutumbula ennimi enzaliranwa nga bazisomesa abantu ekintu kyagambye nti kigenda kuyamba okuzikulakulanya.

Ku mukolo guno, kujjaguziddwako emyaka 34 egy’ekibiina kya Nkobazambogo bukya kitandikibwa ku yunivasite e Makerere n’ategeeza nti kino kifuuse ennimiro Kabaka mwaggya abakulembeze n’abawereeza ab’enjawulo abayambye okuzimba Buganda.

Amyuka Cansala wa yunivasite eno, Polof. Barnabas Nawangwe yeebazizza Kabaka olw’ekitiibwa kyabawadde n’abasindikira Nnaalinya Lubuga okuggulawo myuziyaamu ebbuddwamu Ssekabaka Muteesa II ate n’okukuliramu emikolo gy’okukuza olunaku lw’ennimi ennansi.

Ekifaananyi kya Muteesa

Ekifaananyi kya Muteesa

Enju eno yazimbibwa mu 1944 nga yagikozesanga ng’asoma.Erimu ebisenge eby’enjawulo byeyakozesanga. Mu myaka 50 egiyise yali mu mbeera mbi okutuusa Obwakabaka ne yunivasite e Makerere bwebakwatagana ne bagiddaabiriza okutuusa ku mulembe kweri kati.

Esangibwa ku Poloti 95 ku luguudo Quarry. Muteesa II yali Kabaka wa Buganda owa 35 era Pulezidenti wa Uganda eyasooka ng’era yakola kinene okulwanirira obwetwaze bwa Uganda.

Ssentebe wa Nkobazambogo e Makerere,Adrian Lubyayi asomoozezza bavubuka banne okukomya okukulembezanga Olungereza nga balowooza bamulembe wabula n’abasaba okukozesanga ennimi zaabwe ennansi era n’ategeeza nti ekibiina kino kikoze kinene okukuumira ekifananyi ky’Obwakabaka ku yunivasite eno