Bya Mathias Mazinga
Abayimbi ba kkwaya ya Cherubim Chamber Chorale abakulemberwa Jude Luwaga beegasse wamu ne bbannaabwe aba Quintet Band nebakolera Munsennyooli Expedito Magembe owa Mount Sion Prayer Center Bukalango mu kivvulu eky'okumukulisa emyaka 50 mu Busaserdooti.
Ekivvulu kino kyabadde mu National Theatre mu Kampala ku Ssande.
Mu kivvulu kino , aba Cherubim Chamber Chorale baayimbye nnyimba za Faaza Magembe zokka, okwabadde :Mpulira Oluyimba, Allelluia Kannyimbe, Tukole ki Okufuna Obwakabaka., Empeke Y’engano, Ggwe Kabaka, Omukwano gwo, Nditendereza Omukama By’ankoledde. Baayimbye ne Yezu Mpulira Nkwetaaga, Ntambula ne Yezu, Obwakabaka Obw’omu Ggulu, Obugole bw’Akaliga, Nseyeeya Nze Ngenda, ne Yezu Omutima Gwange Gukunnumira.
Mukisa Eyavudde Mu America, Nsereko Ngabonzira Owa Quintet Band Ne Luwaga Owa Cherubim Chamber Chorale.
Munsennyooli Magembe yeebazizza aba Cherubim Choir okumutegekera ekivvulu, ate n’okuyimbanga ennyimba ze bulijjo.
Yategeezezza nti buli ayimba ennyimba ze aba amuyambako okusaasaanya amawulire agasanyusa ag’e Vanjiri.
“Baana bange mwebale nnyo kino kye munkoledde. Ennyimba zange muzitaddemu akawoowo. Naye ffenna tusaanye tukimanye nti omulamwa gwazo kunoonya Katonda, okwongera okumumanya, n’okutambulira ku lusegere lwe.
Aba Cherubim Chamber Chorale Mu Kivvulu Kye Baakoledde Munsennyooli Magembe Mu National Theatre.
Ennyimba zange zonna essira lizisimbye ku kwagala Katonda n’embaga y’Akaliga. Okuva obuto bwange kino kyembadde njayaanira era ndowoza ngezezzaako,” bwe yategeezezzza.
Ekivvulu kyetabiddwaako n’omukugu w’okusengeka ennyimba ez’amaloboozi era nga y’awandiika ennyimba za Faaza Magembe, Michael Mukisa eyavudde mu Amerika.