NNAMUKADDE akulukusizza amaziga ng'alaajanira abakungu mu Gavumenti n'abazirakisa bamuyambe okumununulirako ekibanja kye ky'alumiriza muwala we okukitundako ekitundu nga tamukkiriza.
Amaziga agakulukusizza ng'eno bw'ayaziiranira mu biggya okuli ekya bba n'abafu abalala b'agambye nti talina w'agenda kubasengulira.
Mukadde Tereeza Nabakooza ow'emyaka 76 omutuuze mu Kalungu Town Council y'ali mu maziga g'agamba nti gamutuusiddwako muwala we gwe yeezaalira Margaret Nassali.
Nabakooza agamba yeegulira akabanja kano wadde ng'abaana baamwongererako ssente.
Alumiriza Nassali naye yamusonderako emitwalo 30 kyokka ate n'amubbako endagaano y'akabanja kano n'agyewolerako amabanja mu bbanka.

Ssengenge Eyasibiddwa Ku Kitundu Ekyatundiddwa nnassali
Alojja nti Nassali yasooka n'atwalira abasajja ba bbanka n'amutimba bbula nti bako abazze okulabako era bajja kudda oluvannyuma beeyanjule mu butongole.
Nnabakooba agamba nti bwe yakizuula nti baali ba bbanka era abaana ne basasulira Nassali obukadde busatu obwali bumubanjibwa.
Agattako nti wano abaana kwe kuwandiika ebigambo ku nju ebirabula bintu bya famire teri akkirizibwa kubikwatako ne balabula Nassali obutaliddamu.
Wabula yalabidde awo ng'ate Nassali aleese 'abaguzi n'abaguzaako ekitundu ku bukadde 8 era ye Nabakooza teyabateereddeko mukono.
Nnabakooza ng'amaziga gamuyitamu alaajanye bwe yeebuuza ky'azaako wadde gy'asengukira n'okutwalayo abafu be.
Alaajanidde Pulezidenti Museveni, Katikikiro Robinah Nabbanja, Minisita Judith Nabakooba, Maama Fiina n'abalala bamununulire akabanja ke.

Ssentebe Wekyalo Kalungu Village Joseph Nnekambuza Agamba Nti Nnabakooza Ne Muwala We Nnassali Bakyamulemye okukkaanyisa
Ssentebe wa LCI ow'ekyalo kino Joseph Nnekambuza awabudde Nabakooza nti akkaanye ne muwala we kibeewaze okuyiwa omusaayi.
Ssentebe Nnekambuza akubye ebituli mu ndagaano ya Nassali nti erimu empewo ng'eya Nabakooza y'entuufu.
Bo abaana; Tadeo Mugerwa ne Ssaalongo Sulaiman Kiggundu bakakasizza nti ekibanja kya Nnyaabwe Nnabakooza nga Nassali akozesa lukujjukujju okukyekomya.
Nnabakooza alumiriza muwala we Nnassali nti yeewolawola nnyo amabanja mu bbanka nga ge gamusudde awabi.
Wabula Nnassali ku ssimu nnamba 0755640573 yagaanye okutusisinkana nti ye talina budde bw'amawulire kugamusaamu kuba ye ayagala Maama we ng'ebizibu bye byamutuunzizaako ekitundu.