Amawulire

Abasse Lwomwa bamaze emyezi 3 nga beetegeka

OKUNOONYEREZA kwa poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala ku kutemulwa kwa Ying. Daniel Kakeedo Bbosa abadde akulira ekika ky’Endiga kulaga nti abatemu bamaze emyezi esatu nga baluka olukwe lw’okumutta.

Katikkiro Mayiga ng’akubagiza Bruce Bbosa, mutabani wa Lwomwa..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Lawrence Kizito, Ponsiano Nsimbi, Peter Ssuuna, Teopista Nakamya ne Lydia Nakiguli

OKUNOONYEREZA kwa poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala ku kutemulwa kwa Ying. Daniel Kakeedo Bbosa abadde akulira ekika ky’Endiga kulaga nti abatemu bamaze emyezi esatu nga baluka olukwe lw’okumutta.

Lwomwa yattiddwa ku Ssande ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi e Lungujja okumpi n’amaka ge ng’abatemu abaabadde batambulira ku pikipiki baamulondodde kuva e Katosi mu Kyaggwe gye yabadde ku mukolo gw’ekika ky’Endiga.

Amasasi 3 agaamuggye mu budde, abatemu baagamukubidde mu mmotoka ye ekika kya Land cruiser nnamba UAH 637X, bwe yabadde ayingira mu maka ge agasangibwa mu zzooni ya Kikandwa, e Lungujja.

Poliisi yatandise okukozesa abantu ab’enjawulo sitetimenti ku ttemu lino wamu n’okukola okunoonyereza kwayo okw’ekyama era ebimu ku byakazuulibwa biraga omu ku bavubuka abasse Lwomwa, Enock Sserunkuuma, nga naye abatuuze baamusse, agambibwa okuba ng’abadde amanyi bulungi Ying. Bbosa ng’ensonga zeekuusa ku ttaka.

Loodi Mmeeya Lukwago Ng’abuuza Abakadde Ipolito Kaggwa Sserwadda Ne Caroline Namayanja Sserwadda Bazadde B’omugenzi Joan Kagezi

Loodi Mmeeya Lukwago Ng’abuuza Abakadde Ipolito Kaggwa Sserwadda Ne Caroline Namayanja Sserwadda Bazadde B’omugenzi Joan Kagezi

Ensonda mu poliisi ziraga nga Sserunkuuma yaliko ebweru ku kyeyo, n’akomawo ng’aliko ebiwandiiko by’ayagala ku LC mu zzooni ya Bulange A, nga biraga nti aliko ensonga z’ettaka lya ffamire ze yali agobako, nti era yatuukirira omugenzi Bbosa abeeko engeri gy’amuyambamu ng’omukulu w’ekika kyokka Bbosa engeri ebintu bye gy’abadde abikwata empola n’alabika nga ataabiwa budde, ekyanyiiza Sserunkuuma ng’alowooza nti waaliwo omupango gw’okubuzaabuza ebintu bye.

Olw’obusungu buno, Sserunkuuma yatandika omupango gw’okutta Omutaka Bbosa, era n’atuukirira abemmundu n’abasomera ddiiru ne bakkaanya nga kigambibwa nti okufuna ow’emmundu n’okukkaanya ku ssente kyamutwalira emyezi nga 3.

 

Wakati mu kuteesa n’owemmundu, Sserunkuuma yatagala galagi ez'enjawulo ng’anoonya pikipiki y’okukolerako misoni, n’okujinga ennamba yaayo.

Bwe baamala kino, ne batandika okwegezaamu ng’eno bwe balondoola Jjajja Lwomwa ne bategeera entambula ze, obudde bw’atuukirako awaka, abantu b’abeera nabo, n’ebirala okumala emyezi esatu emabega.

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza, era essuubi lyayo eddene liri mu Noah Luggya, eyasindirira Omutaka amasasi nga kati ali ku kitanda e Mulago ajjanjabibwa oluvannyuma lw’abatuuze okumukuba ennyo n’asigalako kiyiriitira.

Emmundu eyakozeseddwa mu ttemu lino, okunoonyereza kulaga nti yabaddemu amasasi matono, era abantu baagenze okuzingiza abatemu nga gaweddemu.

Tags:
Abasse
Lwomwa
emyezi 3
beetegeka