Bya Lawrence Kizito
PULEZIDENTI Museveni alagidde bannabyabufuzi okukozesa omukisa gwe balina okuggya abantu mu bwavu okusinga okudda mu bintu ebitagasa.
Museveni agamba nti ebyobufuzi tebitegeeza kugenda ku nnyimbe kwogererayo bigambo ebitagasa bantu, yakiggumiza nti okwogera ennyo tebigasa obeera toyambye kukunga bantu kubaggya mu mbeera ya bwavu.
Bino Museveni yabyogeredde mu bubaka bwe yawadde eri eggwanga ku Lwokuna ekiro, n’alabula bannabyabufuzi okwewala okukozesa ssente zaabwe okuggya abantu mu bwavu kubanga tebalina busobozi buno.

Omusumba Lwere Eyakulembedde Okusaba Ng’ali Ne Bofiisa B’amagye
Yabagambye bakozese ssente ne pulogulaamu eziteekebwawo gavumenti bazimanyise abantu era babalunhhamye ku ngeri y’okuzifunamu, kibayambe okwetikkula omugugu gw’okukozesa ssente zaabwe okuyamba abantu abali mu bwavu.
Yeewaddeko ekyokulabirako, nti ye kino yakikola dda, kubanga yasooka kuggya baliraanwa be mu bwavu, ng’ayita mu kutwala abaana baabwe bonna mu masomero
ga gavumenti, bwe yamala n’abayambako okutandika okulima n’okulunda, era we twogerera bino bagagga bavundu.
Ekyamukozesa kino, agamba nti yali yeewala kubeera na baliraanwa abaavu, abandimutawaanyizzanga ng’ayitawo buli kiseera nga baagala okubawaayo ku ssente. Mu kiseera kino bonna basobola okweyimirizaawo.

Pastor Patience Rwabwogo Ng’ayogera Ku Mukolo E Kololo.
YALAZE ABAFUNYE MU KULIMA
Wakati mu kwogera kwe, Museveni yalagidde ttiimu ye okuzannya obutambi
bw’abalimi abafuna ssente eziwera mu kulima, okuli Minisita omubeezi ow’ebyentambula, Fred Byamukama, Richard Nyakana ow’e Fort Portal, Jackson Kavuma ow’e Gomba n’abalala.
Byamukama yalaze nti omwaka afuna ssente eziri wakati w’obukadde 600 -750
okuva mu yiika ennya kw’akolera emirimu gy’okulunda enkoko, embizzi, ente n’okulima amatooke.
Abalimi abalala okuli Alice Abaho ne Alfred Nabasa bo bakama liita z’amata 100 buli lunaku, ekibawa ssente 1,800,000/- omwezi.
Ye Richard Nyakana yalaze nti akolera ku yiika emu n’obutundu 25, kw’alundira enkoko, okulunda ente z’amata, okukola emmere y’ebisolo, n’okwongera omutindo
ku mata nga agakolamu bbongo alimu ekibala kya Straw berry, ky’alimira ku ffaamu ye.
Nyakana era yagambye nti mu busa akolamu amasannyalaze ga ‘bio gas’, ate obufisseewo n’abutunda nga buli mmotoka agitunda 300,000/-. Omwaka annyuka ne ssente ezisoba mu bukadde 200.

Gen. Wilson Mbadi
YASUUBIZZA KU KUFUKIRIRA
Museveni yasuubizza nti agenda kuwa abalimi b’e Gomba ebyuma ebifukirira, kibayambe okwongera ku bungi bw’amakungula gaabwe, n’okulimira mu budde obw’ekyeya.
Obulwadde bw’emmwaanyi yagambye nti bukosezza nnyo abalimi, era gavumenti eri mu kusala magezi okulaba nga ebafunira eddala,baleme kukosebwa.
Museveni era yalaze essuubi nti okulima kusobola okubbulula abantu mu bwavu, kubanga abalimi bangi basobodde okuzimba amayumba ag’ebbaati, n’okuweerera abaana baabwe, n’okwekulaakulanya.