Mu kaweefube w’okusitula embeera z’abavubuka, Pulezidenti Museveni adduukiridde abavubuka abasiika chapati mu Lubaga North n’ebikozesebwa okuli engaano ne butto basobole okwongera mu bizinensi zaabwe wamu n’abalala okutandiika.
Obubaka buno Pulezidenti yabutisse omu ku bayambi be ku nsonga z’abavubuka, Faizo Ndase, ng’abavubuka abasoba mu 50 abaakungaanidde ku Royal Motel e Kasubi buli omu yafunye katoni y'engaano n’ekidomola kya butto.
Ndase yagambye nti abaayambiddwa baavudde mu bitundu okwabadde Kasubi, Munaku, Lugala, Lubya, Masanafu n’awalala era bano yabakuutidde okulaba ng’omukisa guno bagukozesa bulungi n’okwongera okuwagira Pulezidenti Museveni alina omutima ogulumirirwa.

