Amawulire

Taata atemye abaana be 3, omu amusse abalala bapooca

SSEMAKA avudde mu mbeera n’atemaatema abaana be basatu amajambi, omu n’afiirawo, abalala babiri ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Taata atemye abaana be 3, omu amusse abalala bapooca
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSEMAKA avudde mu mbeera n’atemaatema abaana be basatu amajambi, omu n’afiirawo, abalala babiri ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Sulaiman Kasozi 40, yazuukuse ekiro ku ssaawa nga 8:00, n’akwata ejjambiya ye gye yabadde yawagadde n’asala abaana be basatu obulago. Omu yaleekaanye ekyawalirizza mukyala we (maama w’abaana) okuzuukuka.

Kasozi akola ogw’obuzimbi, mutuuze ku kyalo kye Kikuuta mu ggombolola ye Kakindu ku nsalo ya Butambala ne Mityana, ye yasoobye n’aleka mukazi we Dina Ariba 32, nga yeebase otulo n’atandika okusala abaana be obulago. Mukyala we yeekanze omwana omu ng’alaajana kyokka bwe yazuukuse, Kasozi n’amutegeeza nti balabika bayingiriddwa omutemu mu nnyumba nga ye yabadde atugumbudde abaana.

Ariba, mukyala wa Kasozi, yagambye nti yabadde asooba kuddayo mu buliri amusaanyewo n’omwana we ow’emyaka ebiri gw’alina, kyokka n’azuukuka.

Kigambibwa nti Kasozi abadde aludde ng’agoba mukazi we mu maka gaabwe ng’amugamba amuviire n’abaana be kyokka ng’omukazi amusaba amulindemu asooke azaale kubanga alina olubuto olw’emyezi nga musanvu.

ENGERI KASOZI GYE YASAZE ABAANA

Kasozi yasoobye n’ayingira mu kisenge ky’abaana. Kigambibwa nti yasoose kutema Edirisa Bukenya 11, obulago n’afiirawo kyokka bwe yeekengedde nti mukyala we amuwulidde, olwo n’asala Sulaiman Kasozi ow’emyaka 9 ejjambiya n’emukutula omusuwa gw’obulago, n’asembayo Amudani Muwenge 7 naye gwe yasaze obulago eyalaajanye maama waabwe n’awulira n’azuukuka.

Wano Kaszoi yadduse mangu ebweru n’ayoza ejjambiya eyabadde ebunye omusaayi, n’akomawo mu nnyumba nga bw’agamba mukyala we nti “Mukyala tulabika tulumbiddwa abatemu ne batemaatema abaana baffe.”

Maama w’abaana bano agamba nti bba Kasozi alabika yabadde amanyi abaana bonna abasse era yeewuunyizza ng’omu alimu akassa ate omulala ng’alaajanira mu kitaba ky’omusaayi.

POLIISI YE KIBIBI OMUTEMU EMUKUTTE

Nga Kasozi amaze okutema abaana be, yalabye mukazi we azuukuse n’akuba enduulu eyasombodde baliraanwa nga bw’abategeza nti balumbiddwa omutemu asse abaana be. Kyokka abadduukirize bwe baalabye ejjambiya ye nga etobye ne bamubuuza ogubadde n’atamwattamwa ne bamukwata ne bamusiba emiguwa ne bayita poliisi y’e Kibibi n’emuggalira.

Omulambo gw’owana gwaggyiddwaawo ku makya ne gutwalibwa mu ggwankka e Gombe, n’abaana abalala ne batwalibwa okujjanjabirwa.

ENTABWE KWE YAVUDDE

Okusinziira ku batuuze, Kasozi abadde tatera kubeera mu maka ge olw’emirimu gye egy’okuzimba, nga kino kiyinza okuba kwe kwavudde okwekengera nti oba oli awo abaana bano si babe.

Kyokka abamu bagamba nti abadde alina ssente ze yeewola ku manerenda n’amusingira amaka ge kyokka ne zimulema okusasula nga kati baabadde bamuwadde nsalessale wa wiiki ng’avudde mu nnyumba ne ffamire ye kyokka nga talina w’abatwala kwe kusalawo akubatta naye yette.