Amawulire

Owa UBTEB akubirizza abazadde okuwagira ebyemikono kikendeeze ebbula ly’emirimu

DR. Wilfred Nahamya, amyukaategeka ebibuuzo (deputy secretary Examinations) mu kitongole kya UBTEB ekitegeka ebibuuzo by’ebyemikono, asabye abazadde okuwagira abaana okusoma ebyemikono, okumalako ebbula ly’emirimu.

Dr. Peter Mbabazi, akulira ettendekero lya ly’ebyobusuubuzi ku yunivasite (ku kkono ku batudde), DR. Wilfred Nahamya amyuka akulira eby’ebigezo mu UBTEB, Pulof Mathew Kattampackal Vice Chancellor wa I
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

DR. Wilfred Nahamya, amyukaategeka ebibuuzo (deputy secretary Examinations) mu kitongole kya UBTEB ekitegeka ebibuuzo by’ebyemikono, asabye abazadde okuwagira abaana okusoma ebyemikono, okumalako ebbula ly’emirimu.

Yabadde ku yunivasite ya ISBAT y’ettabi ly’omu Kampala, bwe baabadde batikkira abayizi mu masomo ag’enjawulo ku baafunye satifikeeti ne dipulooma.

Yeebazizza yunivasite ya ISBAT okuteeka essira ku tekinologiya n’ategeeza nti bbo ng’ekitongole beetegefu okukolagana nabo okubangula abaana b’eggwanga. Yakuutidde abaatikkiddwa okubeera abeesimbu mu mirimu gyabwe ate n’okukozesa obulungi amagezi gebaafunye okutondawo ebintu ebipya ebinaayamba eggwanga.

Polof. Mathew Kattampackal, Vice chancellor wa ISBAT Univasite yategeezezza nga bwe bafunvubidde okuyigiriza Bannayuganda obuyiiya mu bintu eby’enjawulo nga bakwataganira wamu n’ekitongole kya UBTEB okubawa amabaluwa agakkirizibwa ku katake k’ensi yonna.

Abaatikkiddwa baafunye amabaluwa mu masomo ga Software Engineering ne Mass Media. Abayizi baayolesezza bye baayiiyizza mu kusoma omwabadde ne galubindi ze baatuumye Smart glasses, eziyambako okulagirira bamuzibe okutambula