Bya Edith Namayanja
ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalwanyisa mukenenya baagala gavumenti eyongere ensimbi ezigula emmere erimu ekiriisa eri abantu abalina akawuka ka siriimu singa eyagala okutuukiriza ekirooto ky’okumalawo akawuka ng'omwaka 2030 tegunnatuuka.
Mu nsisikano ababaka gyebabaddemu n’akakiiko akalwanyisa mukenenya mu ggwanga aka Uganda AIDs Commission, Dr. Vincent Bagambe akulira okuteekerateekera ategeezezza ng' akawuka bwekegiriisa ne mu bitundu bya Buganda ebimu nga wano waliwo abantu 10,000 abaakafuna akawuka era nga ku bano, 3,000 bali mu kibuga Kampala nga 57,000 bali mu bitundu by’omu mambuka ga Buganda.
Bagambe agambye nti ekizibu kino kisinga kuva ku bamaama abalina akawuka abafuna embuto wabula olw’obuteerabirira bulungi ne beesanga ga bakasinze abaana nga bali mu mbuto ne ku mabeere ng'ababayonsa era nga mu Wakiso mulimu abaana 5,700 abalina akawuka ate Kampala 3,300.
Wabula Baguma agamba nti mu Uganda akawuka kasinga kwegiriisa mu Fortportal City ng' eno abalwadde bali bitundu 17 n’obutundutundu 8, disitulikiti y’e Mbarara n'eddako ku bitundu 14 n’obutundutundu 4 ate Soroti City n'ekwata kyakusatu n’ebitundu 13 n’obutundutundu 3 okusinziira kukunonyereza okwakolebwa minisitule y’ebyobulamu.
Kino Baguma agambye kisinga kuva ku basajja abafuna abaagalwa ebweru ate nga bafumbo olwo ne babuleetera bakyala baabwe awaka .
Bbo ababaka ku kakiiko okubadde omukyala ow’e Budibugyo, Josephine Bebona ne Julius Acon owa Otuke East bagamba nti omuwendo gw’abaana abato abakwatibwa akawuka kyandiba nga kiva ku ndya embi mu bamaama n’abaana bennyini abayonsebwa.