Namyalo awadde abakozi be entandikwa y'enkoko n'emmere yaazo

Joseph Mutebi
Journalist @Bukedde
Apr 11, 2024

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hadijah Namyalo awadde abakozi be abakwanaganya emirimu gya offiisi eno mu bitundu by’e ggwanga eby’enjawulo entandikwa y’e nkoko ez’okulunda ne mmere n'abalabula obutabitunda.

“Njagala mubeere eky’okulabirako eri abantu mu bitundu bye mukulembeera ku lwa offiisi eno nga mugenda mu basomesa okwetandikirawo ebyokukola okusobola okuva mu bwavu nga namwe mulina kye mukola ekyamwe nga abantyu kibayambe okwongera ku nfuna yamwe mukweyimirizaawo okuva ku musaala gwokka” Namyalo bweyategezezza.

Namyalo ng'akwasa abantu enkoko

Namyalo ng'akwasa abantu enkoko

Namyalo okwogera bino yabadde ku offiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo ku Lwokuna bweyabadde akwasa abakwanaganya ba offiisi ye eno obukoko obw’olunnaku olumu ekika kya “koloyira” 100, buli omu ssaako ne mmere enabayamba okutandikirawo nga bya bwereere.

Njagala okubategezza ffenna abantu abatunnulidde ssente z’omusaala oba akasiimo nga mwe kemufuna buli mwezi tosobola kugaggawala nga otunnulidde ekyo kyokka wabula bw’ofuna entandiikwa nga eno ey’e nkoko zino 100,  n’oyiga bwe bazirunda kyangu okwongera okubangula nti buli ka ssente k’ofuna kakuyamba okukongera ku nnamba ye nkoko ze watandiika nazzo kubanga kyokola obeera okimanyi bulungi

            “Saagala mbasiibe mu makommera nga mpulidde nti bwe nakuwadde enkoko ate wazitunze okufunamu ssente eza mangu era abadde ne kirowoozo ekyo , enkoko tozitwala zireeke abalala abazaggala bazetwalire” Namyalo bweyategezezza.

            Namyalo yagambye nti kizibu nnyo mu bulamu omuntu okubeera nga osomesa omulala okuva mu bwavu kyokka nga ye talinayo kintu ne kimu ekiyinza okumuyamba okwongera ku nfuna yo era nabo basomesa bavaawo nga bamuyisaamu emimwa.

            Nnange gwolaba Namyalo ndi mulunzi wa nkoko, embuzzi, ente, n’obumyu ku ffaamu yange era njagala n’abakozi bange babeere kyakulabirako eri abantu gye bawangalira nga ne bwendibeera nvudde mu offiisi eno bagya musiigala nga munjogerako nti nabayigiriza bwemwejja mu bwavu.

Ml 3

Ml 3

            Abakozi 60, be bafunye omukisa ogusooka okuva mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo okuli Francis Okello okuva e Karamoja, Sharon Nsiimenta okuva e Mbarara, Caroline Wegosasa okuva mu kitungole kya offiisi eno awatukirwa amassimu n’abalala

            Wegosasa yagambye nti ekintu mukama waabwe Namyalo kyabakoledde sikya bulijjo kubanga abantu abasinga bwe babeera mu offiisi nga eno eggya abantu mu bwavu basalawo okugabira abantu be bweru bokka ate bo  abakozi ababikolamu nga nabo babyetaaga kubanga nabo embeera ebayisa kye kimu naye ffe tuli bamukisa Namyalo akitegedde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});