Namyalo awadde abakozi ba ofi isi ye entandikwa

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 14, 2024

AKULIRA ofiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga, Hadijah Namyalo awadde abakozi abakwanaganya emirimu gya ofiisi eno mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo entandikwa n’abalabula obutabitunda.
“Njagala mubeere eky’okulabirako eri abantu mu bitundu bye mukulembera ku lwa ofiisi eno nga mugenda mubasomesa okwetandikirawo eby’okukola okusobola okuva mu bwavu nga namwe mulina kye mukola okwongera ku nfuna yammwe,”
Namyalo bwe yategeezezza. Okwogera bino yabadde ku ofiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo ku Lwokuna ng’akwasa abakwanaganya ba ofiisi ye eno obukoko obw’olunaku olumu ekika kya “kuloyira” 100, buli omu ssaako n’emmere eneebayamba
okutandikirako.
Njagala okubategeeza ffenna abatunuulidde ssente z’omusaala oba akasiimo nga mwe kemufuna buli mwezi tosobola kugaggawala ng’oli ku ekyo kyokka wabula bw’ofuna entandikwa ng’eno ey’enkoko ekuyamba. “Saagala mbasibe mu makomera nga mpulidde nti bwe nakuwadde enkoko ate wazitunze era abadde n’ekirowoozo ekyo, enkoko tozitwala,” Namyalo bwe yategeezezza.
Abakozi 60, be bafunye omukisa ogusooka okuli; Francis Okello okuva e Karamoja, Sharon Nsiimenta okuva e Mbarara, Caroline Wegosasa okuva mu kitongole kya ofiisi eno awatuukirwa amasimu n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});