Eby'okusengula omutaka Nsamba bikyalanda

Apr 19, 2024

MINISITA omubeezi ow'ebyettaka mu Uganda, Dr. Sam Mayanja akonkomalidde ku gabadde amaka g'Omutaka Nsamba agaakoneddwa, ekibanja ne kissibwaako ekibaati oluvannyuma lw'abaddukanya ekifo kati okugaana okuggulawo era azzeeyo nga tewali kikoleddwako

By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision
MINISITA omubeezi ow'ebyettaka mu Uganda, Dr. Sam Mayanja akonkomalidde ku gabadde amaka g'Omutaka Nsamba agaakoneddwa, ekibanja ne kissibwaako ekibaati oluvannyuma lw'abaddukanya ekifo kati okugaana okuggulawo era azzeeyo nga tewali kikoleddwako.
 
Okutuuka ku kibanja kino ekisabgibwa e Mutundwe kigagga Zzooni, kyaddiridde ekibinja ky'abantu abaakulembeddwamu Omutaka Nsamba Aloysius Magandaazi, JW Kiwanuka, ab'Amasiga mu Kika abatuukiridde Minisita Mayanja nga beemulugunya ku by'avuddeko okwonoona ebintu by'omutaka era ne basaba obuyambi bwe.
 
Mu kwanukula, Mayanja yawandiikidde RCC wa Lubaga Doreen Keita ng'amusaba okuteekateeka enjuyi zonna okugenda ku kifo ewabadde enjega eno wabula olwatuuseeyo baasanzeeyo Omukadde Rosemary Nayiga eyabategeezezza nti awatali Looya we tayinza kwogera kintu kyonna era ne bavaayo nga tebalina kye batuseeyo.
 
Waawulikise amaloboozi okuva ku luuyi lwa Mandaazi nga bagamba nti waakiri ekikomera bakimenye basobole okutuuka munda awaakoneddwa ennyumba naye Minisita ne RCC ne babagaana nti baggya kuba batwalidde amateeka mu ngalo ate nga kkooti yawa bannanyini kifo okukikozesa era ng'ekisobola okubaziyiza kiragiro kya kkooti kirala naye ekitaliiwo.
Ennyumba y'omutaka eyasuuliddwa

Ennyumba y'omutaka eyasuuliddwa

 
Minisita yabategeezezza nti yabadde talina ky'asobola kukola olw'okuba Looya wa ba kkooti be yawa ekifo taliiwo bw'atyo n'asalawo byongezebweyo okutuusa olunaku olulala nga bonna weebali olwo kuba ye ky'ayita obwenkanya.
 
Ku Mmande ya wiiki eno, wannyondo wa kkooti Fredrick Mpikiro ng'ali wamu n'abaserikale okuva ku Poliisi e Nateete nga bakulembeddwamu agiduumira Hassan Ssekalema, baasazeeko ekibanja Magandaazi we yazimba amaka e Mutundwe ne baleka nga bafulumizza ebintu bye n'ekigendererwa ky'okutuukiriza ekiragiro kya kkooti ekiwa obuyinza Stephen Masengere, Rosemary Nayiga ne Tereza Nantale okuddamu okufuna obwannanyi ku kibanja kyabwe oluvanyuma lwa Magandaazi ogw'okusaalimba okumukka mu vvi.
 
Abaana b’omugenzi Edward Kasozi okuli Tereeza Nantale kati mugenzi, Rosemary Nayiga ne Stephen Masengere beekubira enduulu mu kkooti mu 2004 nga balumiriza Magandaazi okwesenza ku kibanja kyabwe mu ngeri y'olukujukujju kwossa n’okuboononera ebintu ebyaliriko mu kiseera we yasengerako mu 1993.
 
Nayiga 70, omwana omukulu mu maka ga Kasozi agamba nti, Magandaazi olw’okuba mwana w’eyali Omutaka Nsamba Joseph Kamoga, yagukozesa ng’omukisa n’atwala ekibanja kyabwe mu ngeri y’okujukujju.
 
Nayiga yannyonnyodde nti, ono yamusaba ng’omwana okulimirako ennyaanya naye ekyaddirira yatandika okukubirako matoffaali wamu n’okumenya enju ya kitaabwe n'okubakolako effujjo lya buli kika.
 
Omutaka Nsamba bwe yabuuziddwa mu nsonga zino yagambye nti teyeewulira bulungi kwogera ku bigenda mu maaso
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});