Bw’oteekateeka omwana omulenzi okukulembera amaka obulungi

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 21, 2024

AMAKA gakolebwa omwami, omukyala n’abaana era nga buli omu ku bantu bano alina obuvunaanyizibwa bwe bw’alina okutuukiriza amaka okusobola okutambula obulungi.
Wabula mu ntambuza y’amaka walina okubaawo obukulembeze kwe gatambulira. Singa obukulembeze bw’amaka bufa, kitegeeza nti, buli muntu agabeeramu asanga okusoomoozebwa.
Kyokka mu bukulembeze bw’amaka, okuva edda ng’omusajja gwe mutwe, n’ayambibwako maama mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka naddala obw’okukuza abaana obulungi basobole okuvaamu abatuuze abalungi ab’omu maaso.
Naye omukulembeze w’amaka nga bwe tulabye nti ye musajja oba ‘Taata’, alina okuteekebwateekebwa okusobola okukulembera n’okuddukanya amaka obulungi, singa tateekebwateekebwa kitegeeza nti, amaka gajja kuyuuga si nakindi n’okusasika.
Kino kitegeeza nti, walina okubaawo enteekateeka ehhenderere mu maka okukuza omwana omulenzi ng’ateekebwateekebwa asobole okukulembera obulungi amaka. Abakugu ate nga bazadde bakulazeengeri entuufu ey’okukuzaamu omwana omulenzi emuteekateeka okubeera omukulembeze w’amaka omulungi.
MAAMA OLINA OMULIMU MUNENE MU KUTEEKATEEKA OMWANA WO OMULENZI OKUKULEMBERA OBULUNGI AMAKA GE
Sheikh Zaid Kasawuli ow’e Kawempe era akulira basseeka bonna mu disitulikiti ya Kampala agamba nti: Kituufu taata ye mukulembeze w’amaka era bw’abeera ‘omunafu’ tegasobola kutambula bulungi, naye taata omulungi ateekebwateekebwa okuva ddala mu buto.
l Mu kukola omulimu guno, maama buulira omwana wo omulenzi engeri entuufu gy’alina okuyisaamu mukyala we bw’aliba amufunye. Ggwe nga bw’oyagalataata waabwe akuyise, bw’oba omubuulira naye bw’aba ayisa mukyala we gw’alifuna. Ekyo bw’okikola kitegeeza nti, oba oteeseteese omulenzi alikuuma obulungi mukyala we amaka galeme kubeeramu ntalo.
l Kyokka naawe taata w’omwana omulenzi olina omulimu, omwanaono muyigirize okuba n’obuvunaanyizibwa naddala obw’okukola emirimu egivaamu ssente. Era omulage nti, tebazijaajaamya, bw’agenda asuumuka mu myaka, mutwale ne gy’okolera alabe bw’okola.
‘Kyewuunyisa okuba ng’oli mutemi wa nnyama naye ng’olina omwana omulenzi ow’emyaka 17 nga tonnamuyigiriza mulimu guno. Kino kiba kikyamu kubanga oba oleze omulenzi ‘ngalobunani’ ajja okukaalubirirwa ennyo okuddukanya amaka ge.
TAATA MU MAKA BEERA EKYOKULABIRAKO ERI OMWANA WO OMULENZI
Gorret Katana, ali mu kibiina ky’abafumbo mu kigo ky’e Kamwokya era nga mukugu mu kubuulirira abavubuka n’abafumbo agamba nti:
l Okusobola okufuula omwana wo omulenzi taata ow’obuvunaanyizibwa amaka gasobole okutambula obulungi ng’akuze, ggwe taata olina okumubeerera eky’okulabirako ekirungi leero.
Bw’ogamba omwana nti, ‘Tolina kubeera taata mutamiivu’, naawe taata leero weewale obutamiivu, bw’ogamba omwana nti, omukyala bamukwata na kisa, ate naawe owuwo gw’olina kati tomukaayuukira naddala mu maaso g’abaana.
l Tujjukire nti, ebikolwa byogera nnyo okusinga ebigambo, awo nno bataata tuyise bulungi mu maaso g’abaana baffe, bwetuba twagala abalenzi babeere abakulembeze n’abaami abalungi era ab’obuvunaanyizibwa, naawe taata tuukiriza obubwo abaana bakuyigireko.
l Mu ngeri y’emu tulina okuyigiriza abaana abalenzi okuba ab’ekisa n’obutaba na muze gujolonga balala. Kino bwe tukikola tujja kwongera okufuna bataata ab’obuvunaanyizibwa era amaka gongere okunyweera

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});