Omwana omulenzi mukuze ng’asobola okukola emirimu egy’ekika kyonna
Apr 21, 2024
Shaluwah Nanfuka, omutuuze w’e Mutungo mu munisipaali y’e Nakawa agamba nti: Okusobola okufuna bataata abalungi era abakulembeze b’amaka, omwana omulenzi mukuze ng’omuyigiriza emirimu gyonna omuli; okufumba, okwoza, n’emirimu emirala egigwa mu kkowe eryo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Shaluwah Nanfuka, omutuuze w’e Mutungo mu munisipaali y’e Nakawa agamba nti: Okusobola okufuna bataata abalungi era abakulembeze b’amaka, omwana omulenzi mukuze ng’omuyigiriza emirimu gyonna omuli; okufumba, okwoza, n’emirimu emirala egigwa mu kkowe eryo.
Omwana omulenzi bw’ayiga emirimu gino, kitegeeza nti, ne bw’aba awasizza, aba asobola okuyambako mukyala we ku mirimu. Okugeza amaka okutambula obulungi, omukyala bw’aba afumba ggwe taata naaza omwana, oyo ye mukulembeze omulungi.
Naye osanga omusajja nga ne bw’abeera awaka buli mulimu agulekera mukazi. Oyo aba teyateekebwateekebwa kubeera mukulembeze w’amaka.
Omukyala bw’akyala abaana n’abaliisa ‘ebikomando’ kubanga teyayiga kufumba, oyo taba mukulembeze mulungi.
Awo nno nga tukuza omulenzi, omukulembeze w’amaka ow’enkya, mumuyigirize emirimu gyonna aleme kumenya mukazi gw’aliba awasizza
No Comment