America etadde akazito ku Yisirayiri

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 27, 2024

AMERICA etabukidde Yisirayiri n’egiragira ennyonnyole ku by’emirambo gy’abantu egirieyo mu 400, egyasangiddwa nga gyaziikibwa kirindi, mu ntaana ezaaziikuddwa ku malwaliro okuli erya Nasser Hospital erisangibwa mu kibuga Khan Younis ne Al- Shifa Hospital erisangibwa e Gaza.
Entaana zino okuzuulibwa, kyaddiridde amagye ga Yisirayiri okwamuka amalwaliro gano, we gamaze wiiki bbiri nga gakola ebikwekweto eby’amaanyi ku balwanyi aba Hamas, Yisirayiri beerumiriza nti babadde baakuba enkambi mu malwaliro gano.n Oluvannyuma lw’ebikwekweto bino, amagye ga Yisirayiri gaagamba nti gasobodde okukwata abalwanyi ba Hamas abasoba mu 600, ne gatta abalala abasoba mu 100.

Wabula oluvannyuma lw’okuva mu malwaliro gano, Poliisi y’e Gaza, ng’eyita mu kitongole kyayo ekya Palestine Civil Defence, ng’eri wamu n’abakozi mu malwaliro gano, baatandise okuziikula entaana ze bagamba nti Yisirayiri ye yazisima ng’eziikamu abantu baabulijjo be yatta ng’ekola ebikwekweto, era bamaze wiiki nnamba nga baziikula, ne bazuula emirambo 392.

Egimu ku mirambo gino, gyasangiddwa mu yunifoomu y’eddwaaliro ey’abalwadde, ate emirala nga giriko eccupa z’amazzi, nga kiteeberezebwa nti abamu ku bantu bano baaziikibwa bakyali balamu!
Mohammed Al Mighayye, eyayogedde ku lwa Poliisi y’e Palastine, yagambye nti emirambo 227 tebannaba kuzuula bannannyini gyo, kubanga kyetaagisa okukola endagabutonde, naye olw’embeera y’olutalo buli muntu asaasaanye tamanyi kiddako nga si kyangu kufuna bagiddukira. nti baazudde entaana ssatu, ng’emu eri mabega
wa ggwanika, endala eri maaso gaalyo, ate endala ng’eri mu luggya lw’ekifo we bajjanjabira abalwadde b’ensigo. Olutalo lw’e Gaza olwatandika nga October 7,2023, oluvannyuma lw’abakambwe aba Hamas okuyingira mu Yisirayiri ne batta abantu 1,170 n’abalala 250 ne babawamba, ekyaleetera okulumba e Gaza bubeefuke n’aba Hamas.
Kigambibwa nti abantu 34,183 be baakattibwa mu lutalo luno, ate abalala 77,143 bali ku bisago eby’amaanyi bye bajja okubeera

AMERICA ESABYE LIPOOTI
Amawulire g’emirambo egyasangiddwa nga giziikiddwa mu ntaana emu bwe gaatandika okufuluma wiiki ewedde, ensi yonna yatabulwa olw’obukambwe obukozesebwa abajaasi ba Yisirayiri mu lutalo luno, era America n’esaba Yisirayiri okufulumya lipooti ennyonnyola akawonvu n’akagga ku ngeri abantu bano gye baatirimbulwamu, na lwakibaaziikibwa kirindi. Jake Sullivan, omuwabuzi wa Pulezidenti Joe Biden ku by’obutebenkevu, yagambye nti America yamaze dda okulagira Yisirayiri eveeyo ne lipooti ennyonnyola ekyattisa abantu bano, na lwaki baabaziika kirindi, ensi yonna esobole okutegeera. Sullivan yagambye nti wadde America ewagira Yisirayiri, naye tebagenda kukkiriza mbeera yonna eteeka obulamu bw’abantu ba bulijjo mu buzibu, kubanga bo balowooza nti engeri nnyingi Yisirayiri z’esobola okukozesa okulwanyisa Hamas, nga tekosezza nnyo bantu ba bulijjo. MUTEREKE OBUJULIZI – UN Ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations,  ne kisaba Abapalasitina okukuuma bwe bazudde, kubanga
bujja kweyambisibwa mu maaso eyo nga Yisirayiri evinaanibwa emisango gyezizza mu lutalo luno. Akulira eby’eddembe ly’obuntu mu UN, Volker Turk, yasabye wateekebwewo akakiiko aketengeredde, okunoonyereza ku ntaana zino, kubanga Yirirayiri tejja kuwa lipooti yetengeredde. YISIRAYIRI EBYEGANYE Amagye ga Yisirayiri nga gayita mu mwogezi waago Brig. Gen. Daniel Hagari, gaategeezezza
nti ebyogerwa nti batta abantu ne babaziika mu ntaana emu si bituufu. Yannyonnyodde nti emirambo egimu gye baaziikawo, baagisimula mu bifo birala ne ku malwaliro gano okwekebejja endagabutonde, okuzuula oba mulimu abantu
baabwe Hamas be yawamba. Emirambo emirala ab’eddwaaliro bennyini be
baagiziika, ku malwaliro, nga beekwasa nti tebasobola kugitwala mu limbo, olw’okulwanagana okugenda maaso.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});