Gavumenti ewaddeyo ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 30, 2024

GAVUMENTI ewaddeyo ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’esaba abakulembeze b’ebyalo okukunga abantu okujjumbira enteekateeka eno kubanga yaakuyambako mu kuteekerateekera eggwanga.
Bino byayogeddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, Amos Lugoloobi ku tterekero ly’ekitongole ky’embalirira ekya Uganda Bureau of Statistics e Ntinda bwe yabadde atongoza enteekateeka y’okuweereza ebinaakozesebwa mu kubala abantu okugenda okubeerawo okuva nga May 10 okutuusa nga 19, 2024.
Lugoloobi yategeezezza nti okubala abantu kya buvunaanyizibwa nnyo kubanga kiyamba okumanya engeri eggwangabwe liyimiridde na biki ebineetaagibwa mu kulikulaakulanya.
Disitulikiti ezaasoose okuweebwa ebinaakozesebwa kuliko; Apac, Gulu, Amolator , Otuke ne Alebtong nga zino ziweereddwa ebikozesebwa okuli kompyuta ez’ekika kya Tablets, T-shirt kw’ossa n’engoye. Yagambye nti baaguze kompyuta (tablets) 125,000 era nga enteekateeka yonna w’eneggweera ng’emazewo obuwumbi obukunukkiriza mu 320.
Akulira ekitongole ky’embalirira ekya
UBOS, Dr. Chris Mukiza yalabudde abo bonna abasuubira okwenyigira mu nteekateeka eno nga tebaweereddwa lukusa okukikomya kubanga bajja kukangavvulwa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});