JOMAYI alangiriddwa mu baavu balunkupe lwa bbanja lya bukadde 800

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Apr 30, 2024

KKOOTI enkulu mu Kampala erangiridde Joseph Magandaazi Yiga (JOMAYI) eyali amanyiddwa mu by’okugula n’okutunda ettaka mu luse lw’abaavu ba lunkupe lwa kulemererwa kusasula bbanja.
Omulamuzi Michael Elubu owa kkooti enkulu ekola ku misango gy’obumenyi bw’amateeka mu nsala gye yawadde n’alangirira Jomayi mu lubu lw’abaavu. Kyaddiridde bbanka ya NC okuwawaabira Jomayi mu kkooti nga bamulanga okulemererwa okubasasula 868,250,000/-.
Elubu yagambye nti okusinziira ku bbanga bbanka ly’emaze ng’ebanja ssente zaayo ne kaweefube akoleddwa okumujjukiza okusasula n’atatuukiriza mumativu nti kkampuni
ya Jomayi Property Consultants Ltd terina busobozi busasula era yalagidde esattululwe era ne nnannyini yo Joseph Magandazi Yiga n’alangirirwa mu lubu lwa baavu balunkupe. Ssente bbanka ze yakozesezza mu musango, kkooti yalagidde zijjibwe ku bintu ebinaatundibwa nga beesasula ebbanja lyabwe.
Obuzibu bwatandika mu 2019, Jomayi bwe yeewola ssente mu NC bank eziwera 1,165,000,000 ze yalina okusasula bwe yali agula ettaka eriwerako yiika 63 erisangibwa e Busiro ku block 410, plot 20 e Ssisa mu disitulikiti y’e Wakiso.
Bbanka ya NC yamutwala mu kkooti enkulu n’amuggulako omusango oguli ku fayiro Civil Suit No. 234 of 2019.
Jomayi yasasulako ku ssente ezimu n’asigala nga bamubanja 868,250,000/- ze yalemwa okusasula. Bbanka we yava okusaba kkooti erangirire Jomayi nti yalemwa okusasula ssente ezimubanjibwa era n’esaba kkampuni ya Jomayi Property Consultants esattululwe era beddize ebyobugagga byayo byonna. Jomayi yasooka kulaga nti mwetegefu okusasula ebbanja era  ’akkiriziganya ne bbanka asasule 925,250,000/- ze yalina okusasula mu bitundu okumala emyezi 10. Obukadde 100, Jomayi ze yalina okusasula buli mwezi zaamulemerera ate nga kye baali bakkiriziganyizzaako. Wakati wa July 24 ne July 31, 2017, Jomayi yasasula obukadde 123 zokka n’asigala ng’abanjibwa obukadde 119. Emirundi gyonna egyaddako yalemwa okusasula ssente mu bujjuvu nga bwe kyali kikkaanyiziddwako. Okugeza okuva August 1 okutuuka December 5, Jomayi yasasula obukadde 209 zokka. Kyokka ekyatabula bbanka kwe kulaba nga Jomayi ate yagenda mu maaso n’atandika okusala poloti mu ttaka nga bwazitunda.

Kinokyali kikontana ku bye bakkkanyako kuba kino yalina okukikola ng’amaze okumalayo ebbanja.

Bbanka yaddamu ne yeekubira enduulu mu kkooti nga baagala asasule akawumbi kamu n’obukadde 165 okutuusa omulamuzi bwe yawadde ensala ye olunaku lw’eggulo ku musango guno

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});