Basabye obw'enkanya ku bakyala abafunira obubenje ku mirimu

Joan Nakate
Journalist @Bukedde
May 02, 2024

Ng’eggwanga Uganda lyegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakozi, gavumenti esabiddwa okwongera okunyweeza natti mu mateeka agafuga abakozi naddala abo abakola mu makolero ag’enjawulo aga bamusiga nsimbi.

Okusaba kuno kukoleddwa omukubirizi w’olukiiko lwa disitulikiti y’e Mukono Betty Hope Nakasi awadde eky’okulabirako olw’eddembe ly’abantu naddala abavubuka abangi ennyo abazze bafunira obubenje mu makolero ag’enjawulo e Mukono omuli ago agakola amaliba, agakola eby’okulya, embaawo n’amakolera amalala mangi nnyo, abaloopa kyokka ne watabaawo kikolebwa okubayamba okufuna obwenkanya.

Bano bazze bakutukako emikono, amagulu n’abamu okulugulamu obulamu, nga n’abamu bavundira mu malwaliro olw’abasawo okugaana okubajjanjaba olwa bamusiga nsimbi bano okugaana okusasula ensimbi ez’okubajjanjaba nga n’ababeera bawonye, bawunzika tebafunye bwenkanya yadde okulabirirwa, embeera ekaluubirizza ennyo ebiseera byaabwe eby’omumaaso olw’ensonga nti babeera tebalina kye bayinza kwekolera.

“Abakozi bangi nnyo bakolera mu bugubi obw’amaanyi kyokka eky’ennaku amateeka gatiitiibya nnyo bamusiga nsimbi olwo abaana baffe abakolera mu makolero ago ne batafiibwaako.

Wano e Mukono bangi tuzze tubalaba nga bafunye obubenje ba musiga nsimbi ne babeegaana twandisabye gavumneti efube nnyo okulaba ng’essaawo enkola enaayamba abakolera mu makolero ekisooka basasulwa ssente ntono nnyo ate twaagala baweebwe n’amabaluwa agakakasa nti bakozi mu makolero ago bamusiga nsimbi bano baleme okubeegaana ssinga wabaawo embeera yonna enkyaamu ebatuseeko.

Twaagala era abakozi baweebwe bye bakozesa okwewala okufuna obubenje mu makolero gaabwe”Nakasi bw’agambye.

Ono era awanjaze okulaba nga wabaawo ekikolebwa ku ddembe lyaabo abakolera emitala w’amayanja naddala mu nsi ez’abawarabu erityoboolwa olw’okutulugunyizibwa okususse.

E Mukono, abantu ab’enjawulo bazze bafunira obubenje ku mirimu mu makolero gano wabula nga n’okutuusa kati tewabangawo kikolebwa okubayamba ng’omu ku bbo ye Herman Hyuha (23)omutuuze w’e Kiwanga Mawotto eyafuna obulema obw’olubeerera, nga kati takyaalina ky’asobola kwekolera oluvanyuma lw’okukutukako omukono mu mwaka gwa 2021 bwe yali akola mu kkolero erimu e Namanve wabula nga n’okutuusa kati tannafuna bwenkanya.

Nakasi era asabye ab’amakampuni bano okwewala okukozesa abaana abato abataneetuuka abatalina bumanyirivu okwewala embeera y’obubenje nga buno okubatuukako

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});