Kenya eronze CDF omuggya oluvannyuma lw’eyabaddeko okufiira mu kabenje

Wilson Ssemmanda
Journalist @Bukedde
May 04, 2024

Nairobi, Kenya

PULEZIDENTI wa Kenya,  William Ruto alonze Gen. Charles Muriu Kahariri ng’omuduumizi w’egye lya Kenya omuggya oluvannyuma lw’eyabadde mu kifo kino okufiira mu kabenje k’ennyonyi wiiki bbiri eziyise.

Kahariri azze mu bigere bya Gen. Francis Omondi Ogolla eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi n’abajaasi abalala  10, ennyonyi mwe baabadde bwe yatabukidde mu bbanga n’egwa mu mu Bukiikakkono bwa Kenya nga April 18, 2024.

Kahariri abadde aweereza ng’omumyuka wa Ogolla, 62, abadde amaze omwaka gumu ku ky’obwa CDF ng’abadde akunukkiriza okuweza emyaka 40 ng’aweereza nga munnamagye.

Ruto era alonze ne bannamagye abalala mu bifo eby’enjawulo omuli: Maj. Gen. Fatuma Gaiti Ahmed alondeddwa ng’omuduumizi w’eggye ly’omu bbanga, nga ye mukazi asoose okulondebwa mu kifo kino bukya Kenya ebaawo.

Azze mu bigere bya lieutenant general John Mugaravai Omenda naye alondeddwa okubeera omumyuka wa CDF.

Major General Paul Owuor Otieno naye alondeddwa okubeera omuduumizi w’eggye ly’oku mazzi era Kenya Navy.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});