AMATABA: 210 be baakafa e Kenya

Wilson Ssemmanda
Journalist @Bukedde
May 04, 2024

EMBEERA ku muliraano e Kenya eyongedde okukaluba, omuwendo gw’abantu abaakafiira mu mataba agaliyo bwe gulinnye ne gutuuka ku 210 nga n’abalala 90 tebamanyiddwaako mayitire!

Mu nkuba eno efudemba e Kenya, bannansi bangi basigadde nga tebalina we beegeka luba oluvannyuma lw’amataba agaamenye ennyumba mwe babadde babeera naddala mu bitundu by’enzigotta, okwonoona ebirime, nga kati abali eyo mu 165,000 ennyumba zaabwe zaayonoonese.

Ku Lwokutaano Pulezidenti wa Kenya, Dr William Ruto yayogeddeko eri eggwanga ku mbeera y’enkuba eno etonnya obutasirika n’alabula bannansi nti beesibe bbiri kubanga okusinziira ku bakugu, waliwo omuyaga omukambwe ogwa ‘cyclone Hidaya’ ogwolekedde okubakuba mu nnaku ntono nga guva ku liyanja lya Indian Ocean, n’alagira n’amasomero nti galindeko okuggulawo olusoma olwokubiri, ekyosi kimale okuyita.

Gavumenti ya Kenya yataddewo weema 115 mu masaza 19 okubudamyamu abantu 27500 abatakyalina we basula.

Omwaka oguwedde abantu abasoba mu 300 be baafiira mu nkuba n’amataba e Kenya, Somalia ne Ethiopia.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});