Omusajja avuze emmotoka okugiyingiza mu maka ga Pulezidenti e Nakasero

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 05, 2024

OMUSAJJA avuze emmotoka kiwalazzima okwesogga amaka ga Pulezidenti e Nakasero n’asattiza abakuumi ab’eggye lya SFC. Wakati mu kasattiro, abakuumi
ba Pulezidenti baataayizza emmotoka eno nnamba UBE 434T ey’ekika kya Mark II ne bakuba amasasi mu bbanga kyokka nga ddreeva waayo Shafik Bwanika ayongera kulumba.
Omwogezi w’amagye ga SFC, Maj. Dennis Jimmy Omara yannyonnyodde mu kiwandiiko kye yafulumizza nti obulumbaganyi buno bwakoleddwa ku ssaawa munaana
n’eddakiika 10 ez’olweggulo ku Lwokubiri.
Maj. Omara yagambye nti kyababuuseeko kubanga abajaasi baakoze kyonna ekisoboka
okuyimiriza Bwanika okulumba amaka ga Pulezidenti kyokka n’agaana ekyawalirizza abakuumi okukuba amasasi mu bbanga okumukanga. “ Nga ddereeva agaanye
okuyimirira oluvannyuma lw’amasasi agaakubiddwa mu bbanga , aba SFC baakubye mmotoka emipiira egimu naye era n’agaana okuyimirira, ng’alemeddeko agenda bugenzi ne bongera okukuba emipiira emirala”, Maj Omara bwe yategeezezza . We kyababuukiddeko ng’olwo emmotoka atandise kugivugira ku bupanka obwabadde buleekaana olw’okwekuuta ku koolaasi.
Oluvannyuma yakoze ‘U turn’ ekitegeeza okuwetera mu kkubo wakati odde gy’ova kyokka kyabadde tekikyasoboka olw’embeera emmotoka gye yabaddemu.
Ng’embeera emukaluubiridde, emmotoka yagisibidde ku ddwaliro lya Platinum hospital
ng’eweddemu amaanyi.
Yakwatiddwa poliisi n’ategeerekeka nga ye Shafik Bwanika eyabadde avuga mmotoka Mark X enjeru.
Bwanika essaawa eno akuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala gye yakoledde sitetimenti okumanya ekituufu kye yabadde agenderera.
Mu mmotoka mwasangiddwamu omukyala, Adiko Mercy Evelyn Aketch, 32 era ono yafudde.
EBIRALA POLIISI BY’EZUDDE Okusinziira ku musango oguli ku fayiro nnamba SD REF 87/30/4/2024 CRB742/ 2024 Bwanika yagguddwako gwa kuwamba muntu.
Byatandika bwebiti; Bwanika aliko omusajja, Joseph Owor gwe yaggyako ssente obukadde butaano mu February w’omwaka guno ng’alina ddiiru gye yamukolera kyokka n’etaggwa.
Owor mwanyina wa Adiko. Owor bwe yabadde agezaako okunoonya Bwanika okumukwata, mwanyina yalemeddeko bagende bombi kubanga yatiddemu okutambula yekka ng’ate by’agendako si byangu.
Bwanika ng’amannya amalala yeeyita Shafik Mayanja, bwe baamuwa obukadde butaano waasigalayo bbalansi wa bukadde 13 mu March w’omwaka guno ne bamwongerayo bubiri. Okumukwata, Owor yamulimbye basisinkane ku Arua Park mu Kampala amwongere ssente endala obukadde 10. Owor yali aludde ng’anoonya Bwanika ku by’okumufera n’amubula kati ku luno yazze ne poliisi Bwanika ky’ataasoose kumanya.
Okufubutula mmotoka adduke, Bwanika yamaze kwekengera ng’alinga alaba poliisi gye
yateeberezza okumukwata. Owor yabadde yalinnye dda mmotoka ya Bwanika nga mwe
boogerera ne mwanyina ng’ali munda kyokka Bwanika bwe yasimbudde, Owor yagibuuseemu mwanyina n’asigalamu era mwe yafiiridde mu kavuyo. Okuva ku Arua park, Bwanika yabadde ku misinde mingi nga poliisi emugoba n’atomera n’owa boda boda omu ku baabadde bamugoba okutuuka lwe yatuuse ku maka ga Pulezidenti e Nakasero awaabadde ensiitaano esembayo n’atomera ebisenge ebyateekebwawo okulabula abagendayo okusooka okuyimirira

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});