Abavubi batumye Namyalo ewa Museveni ku babaguza obutimba obumenya amateeka

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 05, 2024

ABAKULIRA abavubi okuva mu bizinga ebisukka 300, okwetooloola Uganda baddukidde ewa Hajat Hadijah Namyalo abatuusize omulanga gwabwe ewa Pulezidenti Museveni akome ku bagagga n’abakungu ba Gavumenti abayingiza mu ggwanga obutimba obumenya amateeka.
“Nnyabo twekung’anyizza ng’abavubi okuva mu bizinga ebyenjawulo ebisukka mu 300, omuli ebizinga by’e Kalangala, Buvuma, Ddolwe, Lyabaana, Zziru, Nkatta, Luweero,
Zzinga, Libu n’ebizinga ebirala okujja ku ofiisi yo wano tukulombojjere obuyinike
bwetuyitamu mu mulimu gwaffe ogw’obuvubi,” ssentebe w’ekibiina ekigatta abavubi ku
nnyanja zonna ekya (AFALU) mu Uganda, Godfrey Ssenyonga Kambugu bweyategeezezza.
Bino Ssentebe Ssenyonga Kambugu yabyogeredde ku kitebe kya ofiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga e Kyambogo ekulirwa Hajat Hadijah Namyalomwe baamutegerezza nti Pulezidenti abajaasi beyateeka ku nnyanja omulimu gwe bakola gwa ttendo
okulwanyisa envuba embi kyokka basaana bongere okubasomesa bwe balina okukwatamu abavubi.
Ssenyonga Kambugu yagambye nti ekizibu ky’envumba embi, Pulezidenti bw’abeera ayagala kiggwe ku nnyanja alina okukoma ku bagagga n’abakungu ba Gavumenti abayingiza mu ggwanga obutimba, amalobo n’ebintu ebirala ebimenya amateeka ebikwata ebyennyanja.
Namyalo yagambye nti yakizudde ng’ekizibu ekisinga okutawaanya abavubi bano, be bajaasi Museveni be yassa ku nnyanja abasusse okubatulugunya, emisolo egiri waggulu ku buli kintu kye bakozesa, envuba embi ne birala. Yagambye nti abamu ku bajaasi abasindikibwa ku nnyanja baagufula mulimu kunyagulula bavubi bo ne eegaggawaza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});