Balaze endwadde eziva ku kukozesa ebiragalalagala

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 05, 2024

EGGULO, twalabye engeri abakozesa ebiragalalagala gye bakyusizza enkuba, nga kati omuntu asobola okubikozesa n’otomanya, n’olabira mu bikolwa bye. Leero abasawo balaze obuzibu obuli mu kukozesa ebiragalalagala nga bisobola okuleeta endwadde
ez’olukonvuba mu dda.
Dr. Hafswa Lukwata Ssentongo, akulira ekitongole ky’abalwadde b’emitwe (Head Mental Health) era amyuka kaminsona wa Mental Health mu minisitule y’eby’obulamu agamba nti: Okunoonyereza kulaga nti, abantu obukadde busatu be bafa buli mwaka mu nsi yonna olw’okukozesa ebiragalalagala.
Abantu batandika ebiragalalagala bino ng’abasaaga, naye bwe bibayingira baba tebasobola kubiziyiza nga bo, gye biggweera nga tebakyasobola kubivaako.
l Kookolo asinga ava ku biragalalagala, endwaddem  nga siriimu ziva mu kwegadanga, naye omuntu akozesa ebiragalalagala aba takyetegeerera, ne yeesanga ng’afunye endwadde nga zino.
l Twagala okumanyisa abantu bonna, abaana abato, abavubuka, abakulu n’abakazi
abazaala, nti, ebiragalalagala bino bitabangula obwongo bwabwe, era bicankalanya obulamu bwabwe.
l Okukozesa ebiragalalagala kutabula omutwe nga tokyategeera ng’omuntu era
balaba ebitategeerekeka.
l Endwadde ezitasiigibwa nga kookolo, puleesa, ssukaali n’endala nazo zireetebwa
ebiragalalagala, abikozesa talwalirawo mangu ago, naye oluvannyuma lw’ekiseera afuna
obuzibu.
l Ebiragalalagala byonoona ebitundu by’omuntu eby’omugaso okuli: emisuwa, akalulwe, akataago, ekibumba, amawuggwe, ebigenda bimogolwa mpola, ne bitandika okweyoleka mu dda, ng’ate obujjanjabi bwa bbeeyi. l Ebiragalalagala bivaako obulwadde bw’amaaso

amannyo, emba nazo zirwala ne zituuka ekiseera ne zeekwata nga tosobola kwasama,
n’okulumizibwa ebitundu eby’enjawulo bye byonoona bw’obikozesa.

PULEZIDENTI YASSIZZA OMUKONO

Twebaza pulezidenti, okuteeka omukono ku tteeka ly’ebiragalalagala erya Anti narcotic and Psycho active Control Act, nga liri wansi wa minisitule y’eggwanga evunaanyizibwa ku nsonga

ez’omunda (Internal Affairs) n’ab’ebyobulamu nabo balinako ekitundu okukwataganya, okuteekawo amalwaliro okuyamba abantu bano okujjanjabwa.
Etteeka essaawa yonna ligenda kuteekebwa mu nkola okuziyiza ebiragalalagala.
Mu tteeka lino, okusangibwa n’ebiragalalagala, okubirima nga tolina lukusa, okubitunda nga toteekeddwa, okubikozesa gyonna misango.
Ate abaweebwa olukusa okubirima balina amateeka ge balina okugoberera, omuli; okubigoberera gy’obitutte okakase nti, awatuufu gye bitwaliddwa, naddala
abanaaweebwa olukusa okulima enjaga. Kubanga ebiragalalagala bino ebimu ate
bikozesebwa ng’eddagala tuba tubyetaaga

 

Obulabe obuva mu kukozesa ebiragalalagala  

Grace Bikumbi, omusawo mu ddwaaliro e Butabika (Clinical Psychologist/ Addiction and Mental Health Specialist), ow’ekifo ekibudaabuda abantu
abakozesa ebiragalalagala ekya Kampala Youth Recovery Foundation (KYRF) agamba nti:
l Okukozesa ebiragalalagala mu bantu ky’ekintu ekikyasinze obubi eri obulamu, kuba endwadde nnyingi zeekuusa ku kukozesa ebiragalalagala.
l Kireetera abayizi okuseerera n’okuseebengerera mu misomo gyabwe, n’osanga
omuyizi eyali asinga banne nga kati y’akwebera, ng’obwongo bwakyusibwa ebiragalalagala, abamu n’amasomero bagavaamu nga tebakyasobolakugumiikiriza.
l Omuntu akozesezza ebiragalalagala, bangi bafuna obulwadde bw’okwerabira
n’atuuka nga tasobola kujjukira kintu kumala bbangaddene olw’okuba yakozesa ebiragalalagala.
l Obulwadde bw’omutwe, bangi naddala abavubuka abakozesa ebiragalalagala bubatawaanya, abamu atandika okuwuliram amaloboozi ag’enjawulo n’okulaba
ebitategeerekeka. Beebo b’osanga ng’alinga omulalu, ayogera yekka bw’aseka, naye ng’ebiragalalagala byacankalanya obwongo, ate abamu batabukira ddala emitwe ne bataddamu kutegeera.
l Bikyusa endowooza y’obwongo, kizibu omuntu okukozesa ebiragalalagala n’asigala ng’ategeera bulungi.
Bangi bakyusa embeera n’entegeera y’obwongo n’ekyuka, beebo b’osanga nga mukambwe ate abamu nga musirifu tanyega ate nga si bwe yali.
l Ebiragalalagala bireetera omuntu okuwulira amaanyi mangi ag’enjawulo, n’alowooza nti, asobola okukola n’ekintu ekitasoboka ye ng’alowooza asobola olw’ebiragala by’akozesezza. Binaabulako ensonyi ku maaso nga buli kimu alaba akisobola, ky’ova olaba abakola ebikolobero basooka kunywa biragalalagala ebyo. N’osanga oli ng’akutte omwana oba omukazi, abamu bakwata ebisolo, okubba n’okukola eby’obulabe bingi. l Empisa zoonooneka, kizibu okutandika ebiragalalagala n’osigaza obuntubulamu, bisooka ne bikuggyako okutya n’ensonyi
nga ne mu bantu osobola okweyambula, nga tolina ky’otya

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});