Abagoba ba bodaboda bafunye obukodyo bw’ekijaasi Museveni n’abasuubiza pikipiki

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 06, 2024

PULEZIDENTI Museveni asuubizza aba bodaboda okubakendeereza ku ssente za pamiti, abagulire piki empya era n’alagira poliisi eyimbudde piki zonna z’ezze ekwata mu bikwekweto ebyenjawulo.
Bino Pulezidenti yabitegeezezza abakulembeze ba bodaboda 372 okuva mu Kampala ne Wakiso abaabadde bamaliriza omusomo ogukwata ku mwoyo gwa ggwanga ogwabadde ku ttendekero ly’amagye erya School of Leadership and Pan-African Centre of Excellence e Kaweweta, mu disitulikiti y’e Nakaseke.
Yabadde ayanukula ssentebe w’aba bodaboda mu Kampala, Frank Mawejje eyabadde amulombojjedde ennaku mwe bakolera omuli; okubaggyako ssente za pamiti ez’enkana n’abavuga emmotoka eziri wakati w’emitwalo 40 ne 60 awamu ne piki zaabwe ezikwatibwa poliisi ne zibalema okuggyayo olwa ssente ennyingi ezisabibwa.
“Mbadde simanyi nti mbeera gye muyitamu kuba mulonda abooludda oluvuganya abalina okututegeeza abatatutuusaako nsonga zammwe. Kyokka kino kigenda kukyusa ebisale bikendeezebweko waakiri emitwalo 10 nga bwe mwasabye,’’ Museveni bwe yasuubizza.
Pulezidenti era yagumizza aba bodaboda nga piki zaabwe zonna ezizze zikwatibwa poliisi mu bikwekweto ebyenjawulo bwe zigenda okubaweebwa. Yasuubizza okubagulira bodaboda mu divizoni ez’enjawulo nga waakuddamu okubasisinkana bakkaanye ku muwendo ogwetaagisa.
Mawejje yagambye nti Pulezidenti mukwano gwabwe nnyo kuba abateereddewo embeera ebasobozesa okukola emirimu. Mu biseera by’omuggalo olwa Covid-19, bo baasigala bakola era nga baalabiraawo nga Katikkiro w’eggwanga abaweerezza ssente ku ssimu era nga yabalemezza mu kibuga. Pulezidenti yeebazizza akulira eby’okusomesa omwoyo gw’eggwanga mu maka g’obwapulezidenti, Hellen Seku olw’omulimu gwakoze mu Bannayuganda.
Minisita w’ensonga z’obwa pulezidenti, Milly Babirye Babalanda yagambye nti emisolo gy’ekika kino giyamba okujjukiza abantu obuvunanyizibwa bwabwe mu kukuuma eggwanga n’okulikyusa. Minisita wa Kampala, Kabuye Kyofatogabye yeebazizza Pulezidenti olw’okutereeza omulimu gwa bodaboda era n’amusaba akkirize asisinkane n’abalala abataabaddewo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});