Abasuubuzi bazzeemu okuggala amadduuka gaabwe

Moses Kigongo
Journalist @Bukedde
May 07, 2024
Abasuubuzi bazzeemu okuggala amadduuka gaabwe okusobola okusisinkana pulezidenti Museveni nga bwe balagaana mu nsisinkano eyasembyeyo ku nsonga ezibanyiga.
 
Pulezidenti asuubira okusisinkana abasuubuzi bonna olwaleero, oluvanyuma lw'ensisinkano gye basoose okubeeramu n'abamu ku abakulembeze baabwe mu makaage e Ntebe omwezi oguwedde mwe bakkaanyiriza okuddamu okusisinkana abasuubuzi bonna olwaleero nga ( 7) e Kololo abaanukule ku nsonga ey'enkola ey'okusasula omusolo gwa VAT nga abeeyambisa tekinologiya amanyiddwa nga "EFRIS" n'endala ezibanyiga nga bakola emirimu gyabwe mu ggwanga.
 
Wakati mu kwagala okukikola obulungi,abasuubuzi basazeewo okuddamu okuggalawo amadduuka gaabwe omulundi ogw'okusatu,oluvanyuma lw'okugaggala nga 8 ne 16 omwezi oguwedde.
Ama duuka nga mmaggale

Ama duuka nga mmaggale

 
"Tusazeewo okuddamu okuggalawo amadduuka gaffe tusobole okweyiwa ffena e Kololo okuwulira pulezidenti kyagenda okusalawo ku nsonga ya EFRIS n'endala ezitunnyiga okuli ;eya Bamisigga Nsimbi abatembeeya emmaali mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo ,ey'omusolo ogupimirwa mu kkiro n'emisolo egyalinyisibwa ennyo okuviira ddala mu biseera bya COVID-19," bwatyo Godfrey Katongole ,omunyuuka wa ssentebe w'ekibiina kya Federation of Uganda Traders' Association (FUTA).
 
Mukiseera kino , amadduuka gonna okuli, ku Kampala road,Mini price,Nabugabo, Mukwano arcade,Ham shopping center,ewa Kisekka n'ewalala maggale nga ng'abasuubuzi batono ddala mu kibuga.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});