Eyakonjera omukulu w'essomero atanziddwa obukadde 4

Peter Ssuuna
Journalist @Bukedde
May 07, 2024
OMUSOMESA abadde ayogera kalebule ku mukulu w'essomero ng'akozesa omukutu gwa WhatsApp ogubagatta, ogw'okukozesa obubi omutimbagano, gumusse mu vvi n'atanzibwa obukadde buna n'emitwalo 60 nga bwe bimulema waakusibwa omwaka mu kkomera.
 
Ayubu Mubiru 37 nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga y'aweereddwa ekibonerezo kino mu maaso g'omulamuzi omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo.
 
Egimusse mu vvi, gibadde emisango ebiri okuli ogw'okukozesa obubi omukutu gwa Yintaneeti n'okwogera n'ekigendererwa ky'okusiga obukyayi ku muntu gye yazza ku mukulu w'essomero lino Mahad Kayondo wakati wa March 23 ne April 13, 2023.
 
Mubiru yakozesa omukutu gwa watsapp ogw'essomero lya Educare Junior School e Wakaliga ogubagatta ng'abasomesa n'ababatwala ku somero n'ajolonga Kayondo ng'amulangira nga bw'asusse okukozesa abasomesa abakyala b'akulira ekitali mu mpisa yaabwe ng'abasomesa.
 
Yayongerako nti ne bwe baatwalako abayizi wabweru ku kabaga akaggalawo olusoma lw'omwaka, yaleka abaana bazannya n'agenda n'omusomesa omu omukazi mu bifo by'olukake okwesanyusamu ye ky'agamba nti kyali kikontana ne bye baasoma mu matendekero g'obusomesa.
 
Ono era yalumiriza Kayondo okwekobaana n'omukungu wa Bank of Africa okubba omusaala gwe n'ensako ya NSSF ekitaali kituufu nga bino byonna abiyisa ku mukutu guno n'ebigambo ebikaawu ng'omususa.
 
Teyakoma okwo, yamulalaasa mu lujjudde lw'abasomesa banne nti ne by'asomesa tabitegeera asiiba ku WhatsApp ng'abayizi b'ekibiina ky'omusanvu kye bava baagwa essomo lya ssayansi.
 
Mubiru okutuuka okwogera bino entabwe yava ku muwummuza ku mulimu nga kigambibwa mbu okusomesa kwe kwali kwa munguuba nga newankubadde yali asomesa ssomo lya Luzungu naye olungereza yali talukuba budinda kyokka nga kigambibwa yali yabalimba nti alina dipulooma ekitaali kituufu.
 
Kayondo obusungu n'ennaku byamukwata ng'alaba aswazibwa Mubiru ky'ava addukira ku Poliisi y'e Nateete n'aggulawo omusango ku musomesa we ogw'okukozesa Yintaneeti okumutattana era Poliisi yakola file CRB: 306/2023 n'etwalibwa mu kkooti e Mengo ne batandika okuwerennembe oluvannyuma nga Mubiru gumusse mu vvi.
 
Omuwaabi wa Gavumenti Caroline Mpumwire yategeezezza kkooti nti Mubiru asaana kibonerezo kya kusibwa mu kkomera kiwe eky'okuyiga eri abo bonna abasuubira okuzza emisango nga gino ate nga ne mu kwewozaako teyali mwetowaze.
 
Mubiru eyabadde omugonvu ng'olujegere nga n'ebiyengeye mu maaso obiraba, ono yeegayidde eyali mukama we okumusonyiwa era kata afukamire  wabalu Kayondo yakombye kw'erima nti ekitasoboka kumusonyiwa ku mbeera gye yamuyisaamu nga buli lunaku agamba yali amuweereza mmesegi ezisoba mu 30 okumala ennaku 37 ekyamuleetera ennaku n'ekifaananyi kye okufa eri basomesa banne.
 
Omulamuzi Byarugaba mu nsala ye, ategeezezza nti bano baalina enkolagana yaabwe ng'abasomesa ate nga Mubiru y'akolerera ffamire ye kyokka nga kino tekimwejjereza kubanga omuntu yenna ateekeddwa okufuga olulimi lwe bw'atyo ku musango gw'okukozesa obubi Yintaneeti n'amutanza emitwalo 60 nga bwe zimulema asibwe emyezi mukaaga.
 
Ku gw'okwogera ng'asiga obukyayi atanziddwa obukadde buna oba okusibwa omwaka singa zimulemeredde.
 
Omulamuzi alabudde abo bonna abakozesa obubi omutimbagano n'abategeeza nti etteeke likola tebasaanye kweyibaala
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});