Abasajja munaana abagambibwa okuwamba abawala ne babanyagako obukadde 19o gabamyuse nga basindikibwa e Luzira

Peter Ssuuna
Journalist @Bukedde
May 08, 2024
ABASAJJA munaana abagambibwa okuwamba omuwala omubalirizi wa ssente mu Kampuni y'ebizimbisibwa emu mu Kampala ne bamubba obukadde obusoba mu 150 bakaabye nga babasomera ogw'obwakkondo mu kkooti e Mengo, basindikiddwa ku limanda e Luzira.
 
James Namisi 38, ddereeva nga mutuuze w'e Kirinnya Bukasa Kira mu Wakiso, Moses Okello Kakaire 38, ow'e Kitinbwe Kayunga, Titus Masete 39, wa Bodaboda abeera Ntawo e Mukono, Muhamed Lukwago 26, w'e Buziga, Ibrahim Lukwago 33, ddereeva omutuuze mu Kazo Kawempe, James Mukasa 35 w'e Kibuli ne Fred Kinene 35, w'e Kawempe be basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo abasomedde emisango ebiri okubadde ogw'okwekobaana n'ogw'obwakkondo.
 
Kigambibwa nti nga April 9, 2024 Shatrah Namata omubalirizi wa ssente mu Kampuni y'ebizimbisibwa eya Give and Take e Bulenga yaweebwa obukadde 192,968,000 okuzitwala ku ttabi ly'omu Kisenyi mu Kampala n'aweebwa ne ddereeva Ronald Turyasingura n'e mmotoka UBF 616X okumuvugako.
 
Zaali ziwera ssaawa nnya ez'okumakya nga batuuse e Wakaliga, e Mmotoka ekika kya Noah UBH 964Y yabasalako ne mufubutukamu omusajja eyali ayambadde ebyambalo by'amagye ga UPDF ku nnyota ya Lutenanti n'abalala babiri abaabategeeza nga bwe baali bakoze akabenje era ne babasaba okufuluma mmotoka gye baalimu.
 
Bano abaali bakutte ppeya z'empingu ssatu, screw driver bbiri, n'ebyuma baateka empingu ku ddereeva (Turyasingura) ate Namata ne bamukaka okutunula wansi ne babba ensawo omwali Ssente, essimu bbiri ne paasipooti.
 
Kino nga kiwedde baakwata abawambe ne babateeka mu mmotoka yaabwe ne babavuga nga baboolekeza oluguudo lwa Northern Bypass okutuukira ddala e Kira mu kifo Buto gye baabasuula.
 
Abawambe kigambibwa baatandikirawo okukuba enduulu nga basuuliddwa eyasomboola aba Bodaboda abaasitukiramu okugoba ababbi bano era okukakkana nga babiri Namisi ne Kakaire bakwatiddwa mbagirawo omulala n'abulawo.
 
Kyazuulibwa nti Namisi ye yali bwongo bwonna obwateekateeka olukwe luno ng'ayambibwako Ibrahim Lukwago ddereeva wa Kampuni eno eya Give and Take eyali amanyi kubigenda mu maaso mu kitongole kye baali bagenda okubbamu.
 
Kigambibwa nti Namisi ono ye yaleeta Yunifoomu z'amagye zino n'emmotoka y'okukozesa singa misoni yali ewedde bulungi wabula teyagenda nga bwe baasuubira omunyago ne bagubasuuza.
 
Omuyiggo gw'abalala gwatandika okukolebwa Poliisi y'e Nateete ne bakwatibwa ne baggulwako emisango ku ffayiro CRB: 069/2024.
 
Mu kkooti baalabiseeko nga bayunguka amaziga oluvannyuma lw'omulamuzi okubategeeza nti ogubavunaanibwa gwa naggomola nga kkooti ye terina buyinza buguwulira era bwe baba balina kye baagala kyonna bateekeddwa kukiyisa mu kkooti enkulu.
 
Omuwaabi wa Gavumenti Caroline Mpumwire yasabye kkooti omusango egwongezeeyo okutuusa ng'akungaanyizza obujulizi obubasindikayo okutandika okuwerennemba era omulamuzi Byarugaba n'abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga June 13, 2024.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});