Ebisaale ebisasulwa abakyala abazaala e Mulago biwuniikirizza ababaka

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde
May 10, 2024

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ensasanya y’omuwi w’omusolo kawakanyiza omusolo okunganyizibwa eddwaliro ly’abaana n’abakyala erya Mulago Specialized Women and Neonatal Hospital nti obuwumbi 7 bwebagamba okukunganya buli mwaka, ntono nnyo ku nsimbi obuwumbi 31 n’obukadde 999 obubaweebwa ate nga abantu baggyibwako ensimbi nnyingi okufuna obuwereza.

Buli lunnaku omulwadde aweereddwa ekitanda  asula mu kasenge ka Silver aggyibwako 80,000, Gold 150,000 ate Platinum 500,000

Omukyala azaala obulungi awatali kulongoosebwa  asula mu Silver awa 500,000 Gold 1,000,000 Platinum obukadde 2 nga okwebuuza            (consultation) Silver 50,000 Gold 60,000, Platinum 75,000.

Ababaka nga bali mu kakiiko

Ababaka nga bali mu kakiiko

Omukyala alongooseddwa nga azaala mu silver aggyibwako akakadde kamu n’emitwalo 30 Gold  2 n’ekitundu ate Platinum obukadde 4.

Omukyala ali ku Antinental awa 450,000 okwekebejjebwa emirundi 8Antinental (Silver), Gold awa 650,000 ate Platinum 800,000.

Ssentebe w’akakiiko Kano Muwanga Kivumbi agambye nti bweziba nga zino z’ensimbi eziggyibwa ku bantu, kyewuunyisa okuba nga bano bakung'aanya obuwumbi 7 bwokka omwaka ekimuviriddeko ne babaka banne okubuuza akulira eddwaliro lino Dr. Evelyn Nabunya nti bwebaweebwa okukola ku buli kyetagiisa, basobola okufuula obuwereza buno ku bwerere.

Dr. Nabunya agambye eky’okusasulira empereza kwasalibwawo kabineti era kiyambako bannayuganda bamufuna mpola okufuna empereza zino.

Kino kiwaliriza Ssentebe w’akakiiko okulagira bano okubawa olukalala lw’abalwadde ku mitendera gyonna, n’abaana abaweebwa obujanjabi mu mwaka gw’eby’ensimbi 2022/23 n’ensimbi zebakunganya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});