Munnansi wa China aludde ng'atunda ebyambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi bamukutte

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
May 11, 2024

MUNNANSI w'eggwanga lya China akwatiddwa poliisi e Kawempe, ku bigambibwa nti aludde nga yeenyigira mu kuntunda ebyambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi.

Jin Yungung 33, omutuuze w'e Gganda mu munisipaali y'e Nansana mu Wakiso y'akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti bamusanze aliko ebyambalo by'atundira mu dduuka lya Kasaga shop nnamba 14 .

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti , ebyambalo bino ebyefaananyiriza eby'amagye n'ebyo ebyeggye erikuuma omukulembeze w'eggwanga, okuli n'engatto n'enkampa, bikwatiddwa era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Owoyesigyire, agasseeko nti waliwo Munnayuganda omu ategeerekese nga Frank, agambibwa okuba omujaasi bwe baludde nga bakolagana .

Ayongeddeko nti Omuchina ono yajja mu ggwanga ng'omulambuzi era okuva olwo teyaddayo n'atandikawo buzinensi eyo .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});