Aba NUP e Nakawa batongozza okuwandiisa bammemba b'ekibiina

May 13, 2024

BANNAKIBIINA kya National Unity platform (NUP) mu Nakawa West batongozza entekateeka y’okuwandiisa bannakibiina abaggya okufuna kaadi z’ekibiina  nebalabula abanaakola omulimu guno okwewala okusosola  kubanga abantu bonna babetaaga.

By Huzaima Kaweesa
Journalist @New Vision

BANNAKIBIINA kya National Unity platform (NUP) mu Nakawa West batongozza entekateeka y’okuwandiisa bannakibiina abaggya okufuna kaadi z’ekibiina  nebalabula abanaakola omulimu guno okwewala okusosola  kubanga abantu bonna babetaaga.

Bano nga bakulembeddwamu omubaka wa Nakawa West mu palamenti Joel Ssenyonyi  nga ye mwogezi w’ekibiina kino era nga y’akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti basinzidde ku wofiisi ye e Ntinda nebalabula abanaakola omulimu guno okwewala okusosola mu abo bebawaniisa okufuna kaadi.

Omukolo gwetabiddwako bannakibiina kya NUP ab’enjawulo mu Nakawa West okubadde Meeya Paul Mugambe, Omumyuka wa meeya we Nakawa  Salha Mutoni , sipiika we Nakawa Godfrey Luyombya , Omumyuka wa Sipiika we Nakawa Jalia Nalubwama ne bakansala ab’enjawulo n’abantu ssekinoomu.

Ssenyonyi ategezezza nga bwebalina abawagizi abangi kyokka nga eky’ennyamiza abamu ku bano tebanafuuka bammemba bajuvu mu kibiina nga obuzibu bubeera ku butaba na kaadi nga y’ensonga lwaki bavuddeyo n’entekateeka eno.

Asabye bannakibiina okweyambisa entekateeka eno egenda okumala ebbanga ery’omwezi omulamba okwewandiisa baweebwe kaadi z’ekibiina wabula n’alabula abo abasuubira okuzikozesa mu bukyamu obutebetantala.

Alambise nga buli memba ayagala okufuna kaadi eno bw’alina okusasulayo 1000/= zokka kyokka nga n’abo abaagala okusasula ensimbi ezisingako baanirizibwa.

Ssenyonyi akuutidde abagenda okukola omulimu guno ogw’okuwandiisa abantu okufuna kaadi okukulembeza ennyo empisa kireme kusiiga kifaananyi kibi eri ekibiina.

Kyokka akyukidde n’abo abaagala okulemesa entekateeka eno n’ategeeza nga bano bwebalina ebigendererwa ebikyamu n’abasaba beddeko.

Meeya we Nakawa Paul Mugambe akuutidde bannakibiina naddala abo abagenda okubeera mu ntekateeka eno okuggya eby’obufuzi mu ntekateeka eno nga bagaana okuwandiisa abo bebalowooza nti tebabawagira.

Sipiika we Nakawa Godfrey Luyombya akunze bannakibiina okubeera obumu n’ategeeza nga bwebatajja kulinda kitebe kukowoola abo abasaze eddiiro wabula nabo batandikire wano okuyingiza bannakibiina.

Abubakar Cotton nga y’akuliddemu entekateeka y’okuwandiisa bamemba asabye bannakibiina okukwsiza awamu basobole okutuuka ku kigendererwa kyabwe nga ekibiina.

Oluvannyuma bannakibiina ab’enjawulo bawaddeyo ensimbi kw’ossa n’okweyama okugulira bannakibiina abatalina busobozi kaadi kiyambeko obutasibira bweru bawagizi baabwe olw’okuba nga tebalina nsimbi zisasula kaadi eno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});