Aba UBTEB batandise ebigezo byabwe leero

May 13, 2024

EBIBUUZO ebibagibwa ekitongole ky'ebigezo by'emikono ki UBTEB bitandiika ku mande.Ebibuuzo bino biri ku mitendera 3 ; Satifikeeti dipulooma ne higher dipulooma mu masomo ga bizinensi ne eby'emikono eby'ekikugu. 

NewVision Reporter
@NewVision
EBIBUUZO ebibagibwa ekitongole ky'ebigezo by'emikono ki UBTEB bitandise leero ku mande.
Ebibuuzo bino biri ku mitendera 3 ; Satifikeeti dipulooma ne higher dipulooma mu masomo ga bizinensi ne eby'emikono eby'ekikugu.
 
Enteekateeka eno eyanjuddwa dayirekita wa UBTEB Onesmus Oyesigye mu lukungaana lw'abannamawulire ku kitebe ky’ekitongole kino e Ntinda .
Okusinziira ku bibalo omulundi guno , abayizi abawala bagenda kuba bangi okusinga ku balenzi ekitabadde kya bulijjo .
 
Ekitongole kyawandiisizza abayizi 32,726 mu bigezo bino bya MAY/June 2024 . Ku bano abayizi 17,357 bawala ate 15,369 balenzi.
 
Alipoota eyafulumizibwa ekitongole kya national planning policy gyebuvuddeko yalaga nti abawala abasoma eby'emikono gwali gukyali mutono ddala era mimisitule y'ebyenjigiriza yassaawo sikaala ez'enjawulo okusobola okusikiriza abawala okukola amasomo g'ebyemikono.
 
Dr. Wilfred Nahamya, omumyuka w'akulira ekitongole kino anyonyodde nti abawala bangi beeyongedde okwettanira enkola ya TVET okuva gavumenti bweyatandika okubawandiisiza mu bitundu byabwe .
 
Asanyukidde eky'omuwendo gw'abawala okulinnya wabula nga abawala abakyettanidde amasomo agalinga ag'abakazi gamba nga okusiba enviiri , okufumba nebirala .
 
Akulira ekitongole Oyesigye agamba ebigezo bino bitandiika leero nga bafubye okulaba nga bituuka bulungi era mu budde mu bifo ebigezo gy'ebigenda okukolebwa .
 
Alabudde abo bonna abategeka okukuluppya ebibuuzo nti bakukolwako nga amateeka bwegalagira .
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});