Omu ku bagambibwa okubeera omuduumizi wa ADF akwatiddwa

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
May 19, 2024

OMUVUBUKA agambibwa okuba omuduumizi w'ekibinja ekimu  ekya ADF e Congo, akwatiddwa mu kikwekweto ekimanyiddwa nga Operation Shujaa.

Anywari Al Iraq amanyiddwa nga AA y'awambiddwa ab'eggye lya UPDF nga bali wamu n'abamagye g'omukago e Congo . Kigambibwa nti ono, mukugu mukukola bbomu ezimanyiddwa nga Improvised Explosive Devices { IEDs } .

Omuvubuka ono kigambibwa nti nzaalwa y'e Busia mu Uganda era nga mu kikwekweto kino, bazuuliddemu emmundu emu ey'ekika kya SMG , amasasi 45, radio calls 3, RPG emu n'ebintu ebiwerako.

Omwogezi w'ekibinja ky'amagye agomunsozi Maj Bilal Katamba, ategeezezza nti abaana bana ,n'abakazi Bataano, nabo banunuddwa okuva mu buwambe mu Ituri Province e Congo.

Agasseeko nti bonna abanunuddwa bali mu mikono gy'amagye ga UPDF nga bagenda mu maaso n'okufuna obujanjabi n'okubudaabudibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});