KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuse ku kkooti ensukkulumu okusisinkana Ssabalamuzi Owiny Dollo okwogerezeganya ku nsonga ez'enjawulo.

Katikkiro ng'awayaamu ne Ssaabalamuzi
Ku bugenyi buno, Katikkiro atambudde ne Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika ne Minisita w'amawulire Israel Kazibwe.

Katikkiro ng'atuuka mu offive ya ssaabalamuzi
Essiga eddamuzi ly'erimu ku bapangisa b'ebizimbe by'Obwakabaka bingi.
Mu kiseera kino bakyali mu ofiisi ya Ssabalamuzi Dollo banyumyamu oluvanyuma baakwogerako eri Bannamawulire